Bya Moses Kizito Buule
ENJOGERA egamba nti “Mukama Teyerabira banaku be” ddaaki emala n’etuukirira, era okumanya ddala kituufu obutevuma Nsi nga okyali mulamu Abaganda bakilaba, bwe batyo bamulekwa 5 okuli David Mukalazi 10, Godfrey Nsubuga 10, Ruth Nalwanga 5, Esther Nambogo 11, nga kw’otadde ne Pauline Kisakye 6 bayinza obutaddamu kulaba ku nnaku gy’ebabaddemu okuva bwe baazalibwa, oluvanyuma lw’abakulira ekitongole ky’obwanakyewa ki GOLDEN HEARTS FOUNDATION, ekisangibwa ku Kyalo Nakisunga mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono okubazimbira ennyumba galikwoleka, eyamazeewo ensimbi za Uganda obukadde 70.
Abaana bano babadde babeera ku kyalo Kazo ekisangibwa mu Muluka gwe Ssaayi mu Gombolola ye Ntenjeru era nga balekebwawo ttayo oluvanyuma lwa bazadde baabwe okufa ne babalekera Jjajja waabwe wabula nga naye mukadde nnyo takyalian maanyi, era nga kati Abataka ku kyalo be babadde bafaayo okulaba bwe basuze, okulya, okusoma ne bilala.
Akulira ekitongole kya Golden Hearts Foundation Margret Nakavubu bwe yabadde abajja ku kyalo Kazo okubatwala mu maka gaabwe amapya agasangibwa ku kyalo Lubugumu mu muluka gwe Kyabalogo e Nakisunga, yagambye nti kino bakikoze okusobola okuzzaamu abantu abatesobola maanyi, kyeyayogeddeko nga ekijja okutwala eGgwanga mu maaso saako n’esuubi eri bakateyamba mu kitundu kye Mukono ne Uganda okutwalira awamu.
“Abaana bano babadde basula bubi, balya bubi, basoma bubi, bambala bubi era nga ne mbeera yaabwe mu bulamu ssi nnungi naye tugenda kufuba okulaba nga tukola ekisoboka bafune buli kye beetaaga omuli okusomera mu massomero amalungi, okusula obulungi kuba enju yaabwe yiino ezimbiddwa ate nga yamulembe, okwambala kwabwe kugenda kukyuka nnyo nga n’ababalabako luli nga bakyali mu kiyumba ekibi tebabategeera, saako n’okukyusa endya yaabwe nga kw’otadde n’endabika bafuuke abaana ab’obuvunanyizibwa ddala” Nakavubu bwe yanyonyodde.
“Banange nkubiriza abantu mwenna Mukama baawadde obusobozi muveeyo muyambeko ku baana be ggwanga abanaku, kubanga tetumanyi butya ebiseera by’omumaaso bwe binaaba nga amabujje tegafiiriddwaako, mbagamba nti abaana bano be bakulembeze ab’omumaaso nga bwe tutabafaako kubateeka mu bulamu obulungi eGgwanga ly’olekedde akatyabaga.”Nakavubu bwe yayongeddeko.
Yasabye abakulembeze okuvaayo okuyambako ku bitundu byabwe bye bakulembera saako n’okubasakira obuyambi buli kiseera nagamba nti abantu bwe babakwasa obukulembeze baba babawadde omumuli n’obuyinza okubakolera ebinabatwala mu maaso.
“Abaana bano bbo bafuuse bange ddala kubanga ngenda kulaba nga basoma mu massomero amalungi, teri ajja kujula mu bintu ebikozesebwa eby’abulijjo, Ensi ebalabeko nga bafuuse abantu ab’obuvunanyizibwa nga bakuze” Nakavubu bwe yayongeddeko.
Ssentebe we kyalo Kazo Margret Bintubyangu yasiimye aba Golden Hearts okuvaayo okununula bamulekwa bano, n’abasaba okuyambako ne mubitundu ebilara bye yayogeddeko nti nabyo biri bubi.
“Banange abaana mu byalo bali bubi abamu tebakyasoma, abalala batandika okukozesa ebitamiiza, abandi omwenge gugenda kubatta baava dda ku Nsi, bamulekwa bayitirivu teri ayamba” Bintubyangu bwe yagambye.
Ekitongole kya Golden Hearts Foundation ky’atandika emyaka 2 emabega ne kigendererwa oky’okusitula embeera z’abantu mu bitundu bye byalo saako n’okubajja mu bwavu mu bitundu bye Mukono, era nga bagaba ebuwunga abaana bafune eky’okulya ku massomero, okugabira abayizi ebitabo saako n’emikebe egikozesebwa mu kusoma, yunifoomu z’amassomero, nga kati babakanye n’ogw’okuzimbira bamulekwa amayumba.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com