BYA MOSES KIZITO BUULE
POLIISI erangiridde amateeka agagenda okugobererwa mu kudda kw’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ mw’eweredde ebikujjuko n’enkung’ana zonna ezibadde ziyinza okubaawo mu kudda kwe.
Bobi Wine bwanatuuka ku kisaawe e Ntebe ajja kwanirizibwa ba famire ye yokka n’oluvannyuma ab’ebyokwerinda bamuwerekere okumutuusa mu maka e Magere ku lw’e Gayaza.
bwe babadde boogera eri bannamawulire mu Kampala abakungu ba poliisi okwabadde omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima saako n’abakulira poliisi mu Kampala n’emiriraano abalala baategeezezza nti.
‘’Tukitegedde nti omubaka Robert Kyagulanyi akomawo nkya ku Lwokuna nga September 20. Ajja kwanirizibwa ba famire ye bokka era abeebyokwerinda bagenda kumukuuma okuva e Ntebe okumutuusa mu maka ge e (Magere)’’.
Kayima ategezezza nti akitegeddeko nti waliwo abantu abagenda bagaba T’ Shirt emmyuufu n’okukunga abalala okwetaba mu bikujjuko by’okumwaniriza Kyagulanyi n’agamba nti bino bimenya mateeka era tebigenda kukkirizibwa kuba bijja kutataaganya enzirukanya y’emirimu mu Kampala ne bitundu ebirinanyewo.
Bobi Wine abadde mu Amerika gye yagenda okujjanjabirwa oluvannyuma lw’okufuna obuvune mu kanyoolagano k’okukwatibwa ab’ebyokwerinda mu kibuga Arua gye yali ne banne nga bagenze okunoonyeza omubaka Kasiano Wadri akalulu.
Yakwatibwa n’abantu abalala 33 ne baggalirwa ku by’okukanyugira emmotoka za Pulezidenti Museveni amayinja ne bayasaako emu endabirwamu era emisango giri mu kkooti e Gulu. Ogw’okusangibwa n’emmundu gavumenti gwe yali emutaddeko yagumuggyako
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com