Bya MOSES KIZITO BUULE.
Musomese abaana babayambe nga bakuze. Muyanja.
OMUBAKA wa maserengeta g’aMukono mu lukiiko lwe ggwanga olukulu Johnson Muyanja Ssenyonga, asabye abazadde okw’elekereza buli kalungi konna, basomese abaana baabwe mu masomero amalungi, olwo basobole okufuna emirimu emirungi, balyoke babayambe oluvanyuma nga bamaze okusoma.
Muyanja okwogera bino yabadde ku ssomero lya Mathew Cardwell
pulayimale elisangibwa mu gombolola ye Mpatta e Mukono ku lw’okusatu, bwe
yabadde ayitiddwa omukulu we ssomero lino, okumuyambako okw’ogera
n’abazadde bamanye obuvunanyizibwa bwabwe mu kusomesa abaana.
Yagambye nti abazadde basaana bakimanye nti abaana be bazaala
ky’abugagga kya nsibo gye bali, nti kubanga omwana bwaba obulungi,
muzadde we yasinga okumufunamu, ne bwaba tamuwa ssente naye
n’okumuweesa ekitiibwa kikulu nnyo.
“Abazadde era mukomye okugaya abaana abato okusinziira ku ndabika,
enyambala, ebikolwa ne bintu bilala bye bakola mu biseera byabwe
eby’obuto, wabula mufube kubalabirira bulungi saako n’okubakuliza mu
mpisa kubanga temumanyi baana bano be munyooma kiki kye baliba mu dda.”
Muyanja bwe yategezezza.”
Yayongeddeko nti bbo mu kiseera we basomera, teri yali amanyi nti ekiseera kirituuka ne bafuuka ab’omugaso eri ekitundu gye bazalibwa, saako ne ggwanga okutwalira awamu, nagamba nti omwana okukula n’afuuka wa buvunanyizibwa emirandira giva waka wakulidde naddala abazadde nga gwe mutwe omukulu.
Ye omukulu wa bazadde owe ssomero lino Odoyo Kirwana yalaze obwenyamivu eri abazadde abatafaayo kusasulira baana baabwe mmere ku ssomero, kye yagambye nti kye kimu ku bintu ebizza omutindo gwe byenjigiriza emabega, kubanga omwana omuyala tasobola kukwata bimusomesebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com