Bya MOSES KIZITO BUULE, Mukono
OMULIMI w’emmwaanyi kayingo mu ssaza ly’e Nakifuma Haji Umar Ddumba awadde abalimi amagezi obutaggwaamu maanyi olw’amakungula amatono, wabula bayige obukodyo obw’okugongerako.
Haji Ddumba nga ye nnayini kyuuma ekisunsula emmwaanyi ekya Yawe Coffee factory ekisangibwa mu kibuga Nakifuma mu Gombolola ye Kimenyedde e Mukono, alima, agula era asunsula emmwaanyi, ng’essamba ye eya yiika 30 eri ku mutala Makukuba e Nabbaale; agamba nti abalimi bwe baneesiba ku magezi g’ekikugu, omutindo n’obungi bw’emmwaanyi bujja kuddamu okutinta okutuuka ku mutindo kwe bwaali mu biseera byobufuzi bw’amatwaale.
Mu mboozi ey’akafubo ne ERIISO ku nnimiro ye ne ku kyuuma ku bbalaza, yanenyezza nnyo abalimi abakungula emmwaanyi embisi n’agamba nti be basibukako ab’akatale k’ensi yonna okugaana kaawa waffe, n’agattako nti n’endokwa eziva mu mmwaanyi ento nazo zivaako emmwaanyi okufa oba okuvaamu entono mu makungula.
Yanokoddeyo endokwa ezigabwa aba operation wealth creation ng’ezisinga okuva mu mmwaanyi ezitakuze kimala, n’olw’ekyo ne zifa oba okuvaamu emmwaanyi entono.
Ddumba yawakanyizza abalimi abagamba nti amaanyi agazirima gabawedde olw’endwadde, n’atangaaza nti akawuka akalya enduli ennaku zino kangu okuzikiriza okusinga kiwotokwa eyakaabya abalimi amaziga gye buvuddeko.
Ku bigambibwa nti emmwaanyi eza kolono zigumira obulwadde, yakkaatirizza nti nazo zilumbibwa obulwadde nga zi kasangwaawo, nti wabula bwe zifiibwaako ng’obylwadde bwakalabibwa, bufa. Yagasseeko nti okwesiga n’okugoberera amagezi g’ekikugu kikendeereza ddala obulwadde, ne kirinnyisa n’essuubi ly’okuzzaawo omutindo gw’emmwaanyi.
Haji Ddumba yagambye nti okulinnya n’okukka kw’emiwendo gy’emmwaanyi kisisnziira ku miwendo ku katale k’ensi yonna, n’agattako nto okugeza, kilo ya kase eri wakati wa shs 4,000 ne 5,500, sso nga kibooka e kilo egula wakati wa 2,500 ne 3,000.
Yawadde ekifaananyi nti omulimi alina yiika emu bw’aba asimbye endoklwa ezikkirizibwa, n’alabirira ennimiro ye okusinziira ku magezi g’abakugu, mu kunoga emmwanyi n’azanika bulungi, asobola okufuna amagoba ga shs obukadde 5 omwaaka.
Yawadde ebalimi amagezi obutalima nnimiro gaggadde ze batasobola kulabirira bulungi, wabula balime entonotono ze baanasobola, kibawe amakungula amalungi era ageeyagaza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com