Bya Moses Kizito Buule

EKIVVULU ky’omuyimbi omututumufu mu Ggwanga Bobi Wine ekimanyiddwanga KYARENGA CONCERT kizziddwa Busabala ku biiki ya One Love, oluvanyuma lw’abakulira ekisaawe kye ggwanga ekya Mandela National Stadium okumulemesa okukitegekerayo.

Bobi Wine nga amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi abadde amaze enfunda eziwerako ng’asaba abatwala ekisaawe kye Namboole okumukkiriza ategekereyo ekivvulu kye kyokka nga olumu bamukkiriza ate bwe bamala nga bamulemesa.

Okusinziira ku mutegesi we kivvulu kino Emma Serugo agamba nti basazeewo ekivvulu kino okukitwala mu kifo kye batagenda kwegayirira nga bwe babadde bakola e Namboole nga buli kiseera babadde balinga abali mu jjangu onkwekule.

“Tusasanyizza ensimbi nnyingi mu kulanga ekivvulu kino, era n’abawagizi b’omuyimbi waffe babadde betamiddwa enkyukakyuka ez’abuli kadde naye kati kabuzibe, kabukye, k’etonnye, kagwaake nga 10 ogw’ekkumi n’ogumu kuluno kilina okubaayo era n’ebitongole bye by’okwerinda byonna tumaze okubitegeeza ku nsonga eno. Serugo bwe yagambye.”

Kinajjukirwa nti abakulira Namboole baali bakkiriza Bobi Wine okutegekerayo ekivvulu kino nga 16 omwezi ogujja kyokka ne bamala ate n’ebakisazaamu nga bagamba nti ennaku ezo wajja kubaayo omupiira gw’attiimu ye Ggwanga ogw’okusunsula abanagenda mu kikopo kya Africa.

 

 

Comments