Bya Musasi waffe

MINISITA w’eby’okwerinda Gen. Elly Tumwine avuddeyo n’alumiriza bannamawulire okuba emabega w’okutataaganya eby’okwerinda bye ggwanga, nga agamba nti bakozesebwa bannabyabufuzi saako ne bitongole by’obwanakyewa.

Tumwine bino aby’ogeredde mu maaso ga bannamawulire babadde ayise ye yenyini mu lukiiko lwabwe lwe yayise ku lw’okuna olw’atudde  ku offiisi ya Katikkiro we ggwanga mu Kampala.

Wano weyasinzidde nategeeza nga Bannamawulire mu Uganda bwe bakwata ekifo eky’okumwanjo ennyo mu nsonga y’okutataganya eby’okwerinda, nga bakozesebwa bannabyabufuzi saako ne bitongole by’obwanakyewa era nga bibasasula.

Yanyonyodde nti bano tebakyalina mwopyo gwa Ggwanga lyabwe kubanga balwanyuisa Gavumenti ya NRM.

Bino webijjidde nga Bannamawulire abasoba mu 10 baggaliddwa ku makya g’olwokuna ku Poliisi ye Entebbe, nga nabalala banyiga biwundu eby’abatuusibwako abeby’okwerinda.

 

 

 

 

 

Comments