Bya Moses Kizito Buule.

AKULIRA ekitongole kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba aweze obutaddamu kukkiriza muwalawe Sheilah Gashumba kuddamu kweyisa mu ngeri y’abugwenyufu, gy’ayogeddeko nga etaweesa kitiibwa maaka gaabwe.

Gashumba agamba nti muwalawe ono abadde afuuse ekitagasa nga mukunywa omwenge yefudde muzibu, era nga atambula n’abantu abatali ba buvunanyizibwa bagamba nti babadde batandise okumwonoona.

“Nze Gashumba siyinza kutuula ne ntunula butunuzi ng’omwana gwe nakeera ne nzaala, ne nsomesa saako okumukuza obulungi, ayolekedde okufuuka ekisekererwa mu nsi, awo wakiri embooko ejja kuvaayo anti enjogera y’Abaganda egamba nti suula omuggo oyonoone omwana.”Gashumba bwe yagambye.

Kino kiddiridde eby’afulumidde ku mikutu gy’amawulire nga bweyawewenyudde muwala we Sheilah kibooko bwe yamusanze mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu Kampala.

Yanyonyodde THE WATCHDOG nti afubye okukuza omwana we mu mbeera ennungi era namutwala mu massomero agasinga obulungi mu Nsi, nagamba nti buli muzadde mu asasudde ku nsimbi ze ssomero nga nnyingi tayinza kusirika nga omwana gw’aweredde awaba.

 

Comments