Bya MOSES KIZITO BUULE.

SSABADDUMIZI wa Poliisi ,Martin Okoth Ochola avuddeyo neyesammula ebigambibwa nti Poiliisi ekutte omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Sentamu, nagamba nti zino zibadde ngambo ezibungesebwa abatagaliza kitongole kya Poliisi kyakulembera.

Bwabadde ayogera mu mboozi eyakafubo ku radio emu mu Kampala Ochola ategezezza nti tewali akutte mubaka Kyagulanyi, okujjako kyebakoze kwe kumuwerekerako, n’okumusobozesa okudda obulungi mu maka ge, agasangibwa ku mutala Magere mu Wakiso.

Kyokka kitegerekese nga Kyagulanyi olubadde okutuuka ku ttaka lya Uganda nga ava mu nnyonyi ye kitongole kya Kenya Airways atambuddeko akabanga katono n’akwatibwa, natwalibwa ku Poliisi ye Kasangati gye bamujje ne bamuzza mu makaage e Magere.

Wabula oluvanyuma Kyagulanyi asisisnkanye abawagizi be mu makaage.

 

 

 

Comments