Bya Moses Kizito Buule

ABATUUZE ku kizinga kye Sowe mu gombolola ye mpatta e Mukono bawanjagidde abakulembeze baabwe babataase ku ggana lye mbwa ely’azinda ekitundu kyabwe gye buvuddeko nga kati ziruma abantu nga kwotadde
n’okulya ebisolo.

Bano bategezezza mu lukiiko lwe batuzizza ku kizinga kino ku lw’okutaano nti embwa zino zaali z’omu ku bazungu abaali besenza mu kibira ekiri okumpi ne kizinga kino, nti kyokka okuva lwe yagobwayo nazireka eyo olwo ne zizaala ne zaala nga kati mpitirivu nnyo ate nkambwe okufa.

Ssentebe we kizinga kino Jafari Owori yagambye nti mu bbanga lya myezi 2 embwa zino zirumiddemu abantu 7, saako n’okulya embuzi,embizzieziwerako ne nkoko ate nga mu budde bwe kiro zizinda ekizinga kyonna ne zibba ne mmere nga kw’otadde okwonoona ebintu.

Yanyonyodde nti baali bagezezzaako okuziyigga nti kyokka ne zibaremerera olwokuba empitirivu ate nga nkambwe nnyo, era ne zibasinga amaanyi ne zibagoba mu kibira ne zikyefunza nga n’okuva olwo tebaddangayo.

Amyuka Ssentebe we gombolola ye mpatta Kirwana Odoyo mu lukiiko yategezezza abatuuze nti egombolola yali yafuna omulanga gw’abatuuze ku mbwa zino nti kyokka ne bagezaako okufuna eddagala erizitta nti naye ly’abalema olw’okuba lya bbeeyi tebalisobola, nagamba nti bagenda kufuba okulaba nga bafuna abazira kisa babayambeko ku ddagala basobole okuzitega ziffe.

Embwaa zituli bubi. Batuuze.

God Mutyaba we Buwunga. Banange abalina amagezi gonna batuyambe ku
mbwa zino ezafuuka emisege, bwe tunaaba tetwerwanyeko zijja kutandika
naffe okutulya kubanga ndaba zifunze ekyonga.

Jamawa Nakalyoowa Kkansala ku gombolola e Mpatta. Twafuna okusaba
kwabantu abo ku mbwa naye mu kiseera ekyo e gombolola yali terina
nsimbi zigula ddagala lisobola kukola mulimu gwa kuzitta, naye ka
tufube tulabe.

Peter Lubega we Sowe. Embwa zitufuukidde ekyambika kubanga kati zirya
buli kintu ate nkambwe nnyo, abakulembeze twabategeeza naye teri kyali
kikoleddwa, ndowooza balinda zimale kutulya.

 

Comments