OMUKULEMBEZE we kibiina kya Nationala Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu atabukidde mu lukiiko lwa bazadde olwayitiddwa ku ssomero lya St.Mary’s College Kisubi, nga agamba nti abakulira essomero lino basusse okuwayiriza, okusosola n’okulemesa omwana we Solomon Sekaayi Kampala okweyagalira mu ssomero lino.
Ono obwedda bakira alumiriza omukulu we ssomero lino Brother Deodati Aliganyira gwagamba nti ono afuukdde omwana we ekyambika nga yatuuka n’okutegeeza bannamawulire nti baali bakwatidde omwana we mu bikolwa by’okukozesa enjaga ku ssomero era nawummuzibwa sabiiti 2 nga tasoma.
Kyagulanyi eyabadde omukambwe yategezezza nti oluvanyuma lw’okuwulira amawulire gano gaagamba nti gaakosa nnyo ye nga omuntu, omwana saako ne Famire ye yonna, yasitukira okulaba ogubadde era natuukirira omukulu we ssomero eyamutegeeza nti ddala kyali kituufu.
“Namusaba obujulizi obulaga nti ddala omwana wange yeetaba mu kukozesa ebilagaralagara eby’omutawaana eri obulamu bwa bantu era nga tebikkirizibwa Omukulu we ssomero yagaana n’okutuusa kati, wabula yantegeeza nti kwolwo kkamera ezikwata ebifananyi ku ssomero zaali teziliiko era nantegeeza nti zitera okufuna obuzibu, ekyaleka ebibuuzo bingi mu mutwe gwange.
Omukulu we ssomero era azze atulugunya omwana wange nga yatuuka n’okumugaana okwesimbawo nti kubanga wa ttutumu nnyo mbu nga amateeka ge ssomero tegakkiriza mwana amanyiddwa ennyo kwesimbawo kufuna offiisi yonna mu ssomero lino.
Ekintu ekyo kyannuma era ne newunya omukulu we ssomero ono, kubanga ffenna mu bulamu twagala abaana baffe bakule nga babuvunanyizibwa nga kino kilagibwa mu kwetaba mu bukulembeze nga bato” Kyagulanyi eyabadde omukambwe ku lw’omukaaga bwe yagambye.
Yayongeddeko nti yali ayagala okukyusa omwana we amutwale mu ssomero eddala, nti kyokka omwana essomero lino alyagala nnyo kubanga ne bajjajjabe mwe baasomera.
“Ndi musajja mukatoliki bazadde bange bonna bakatoliki omwana wange ye nsonga lwaki namuleeta wano we mmanyi obulungi nti abaana bakuzibwa mu ddiini.
Ebimu tusalawo okusilika olw’obulungi bwe ssomero lyaffe lino naye nga abaana n’abazadde bayita mu bizibu bingi, nze leero nsazeewo okwogera ebituluma ku lwa bazadde bannange” Kyagulanyi eyabadde afuna obululu okuva mu bazadde banne bwe yagambye.
Yayongeddeko nti buli musomesa agezaako kusemberera omwana we mu ssomero lino agobwa kye yagambye nti ayagala omukulu we ssomero amubuulire lwaki bino byonna bituukawo.
“Twali twateesa nti bwe kiba kyetaagisa sijja kujjanga mu nkiiko za ssomero kwewala abantu abangi okujja essomero ne lisasamara, naye ngenze okulaba nga kisusse kwe kujja wano
“Era twali twakkiriziganya ensonga zino tuzimale nga abazadde munda kyokka kyanewunyisa okulaba ate nga omukule we ssomero avaayo mu mawulire ne mboozi ez’okuwayiriza ze twagamba nti zilekebwe” Kyagulayi bwe yagambye.
Essomero lya SMACK lisangibwa Kisubi ku luguudo lwa Entebbe nga eno abantu bamaanyi bangi mu ggwanga gye baasomera.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com