ABATUUZE ku byalo 8 mu muluka gwe Kasambya mu gombolola ye Mitete e Sembabule mu kiseera kino bali mu kyobeera, oluvanyuma lwe nkuba ey’amaanyi nga elimu omuzira ne kibuyaga okusaanyawo ebirime byabwe ku lw’okusatu akawungeezi nga mu kiseera kino tebanamanya kye bazaako olw’okuba bangi ku bo baali ensimbi ze baakozesa okulima beewola neewole okuva mu ma Bbanka ag’enjawulo.
Bano baategezezza nti ebirime eby’ettunzi okuli ennyaanya, kasooli, muwogo, amatooke ne bilala byonna enkuba yabilese ku ttaka, ne balaga okutya nti singa tebadduukirirwa mangu boolekedde okusibwa mu makkomera saako n’okutwalibwako ebyabwe olw’amabanja agaboolekedde.
Wakati mu kusoberwa abatuuze bategezezza omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Mary Begumisa eyabadde agenze okubalambulako nti, abayambe atwale eddoboozi lyabwe mu Palimenti saako ne mu Minisitule ye bibamba ne bigwa bitalaze Gavumenti ebadduukirire kubanga ebibiina bya bakyala mwe beewola sente okulima bilabika biyinza obutabawuliririza ku kyabatuuseeko.
Bategezezza Omubaka Begumisa nti mu kiseera kino ne ky’okulya kyenyini kigenda kufuuka kizibu, olw’ensonga nti emisiri gye mmere gyonna gy’asanyiziddwawo ne bamusaba abasalire ku magezi basobole okubaako ne kye bazza eri olubuto.
Mu kwanukula Begumisa yeyamye okutuusa ensonga yaabwe mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu ne mu Minisitule ye bigwa bitalaze, era nagamba nti agenda kulwana nga bwe kisoboka atuukirire ne bitongole by’obwannakyewa ebigaba obuyambi bisobole nabyo okuyambako ku batuuze.
Yanyonyodde nti agenda kukola alipoota eyawamu nga kwotadde ne bifananyi ebilaga obukakafu obw’ebintu eby’ayononeddwa omuzira abitwale eri be kikwatako basobole okubadduukirira.
Ono era yalabudde abatuuze okwewala ebantu abayinza okubaleetamu eby’obufuzi ebiyinza okubaleetamu enjawukana mu kiseera kino, nagamba nti buli muntu ajja nga aleese obuyambi obwabuli ngeri bamwanirize kubanga mu kiseera kino kye basinga okwetaaga bwe buyambi basobole okuzaawo ebintu byabwe eby’omuwendo eby’ayononeddwa omuzira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com