Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni olutalo lw’okulwanyisa obwavu lwe yatongoza gye buvuddeko alw’ongeddeyo mu Disitulikiti okuli Nakaseke ne Nakasongola awaali olutalo olw’amuleeta mu buyinza.
Museveni nga ayita mu Offiisi ya ONC yatongoza kawefube ono wiiki ewedde mu Luwero era nga abatuuze baafuna enkoko ne mbuzi okusobola okwegobako obwavu.
Olwaleero entekateeka eno yeyongeddeyo e Nakaseke ne Nakasongola nga mu kiseera kino abalunzi bamaze okufuna ebintu byabwe.
Bwabadde akwasa abantu enkoko ne mbuzi mu bitundu bye Kapeeka e Nakaseke, akulira office of The National Chairman (ONC) Hajjat Hadijja Namyalo agambye nti kino bakikoze okusobola okulaba nga batuusiza ddala obuwereza ku bantu ba wansi obutereevu nga omukulembeze we Ggwanga bwe yabalagira.
Yagambye nti wabaddewo okwemulugunya mu bantu nga bagamnba nti ebintu Gavumenti by’ewereza tebituuka ku muntu wa bulijjo, nagamba nti ye nsonga lwaki mukamaawe Pulezidenti yamulagira okubyetwalira abituuse ye ke nnyini.
“Njagala pulezidenti bwanakyalako mu bitundu byammwe abalambuleko era mumulage ebintu bye mwafuna okuva mu offiisi ye, era mumutegeeze butya bwe mubilabiridde okusobola okwegobako obwavu.
Enkoko zino ne mbuzi mu bilunde bulungi era nga anaakola obulungi tujja kumwogera ebilala, ate analemererwa omukisa gujja kumujjibwako guwebwe abalala nabo okusobola okuganyulwa” Namyalo bwe yategezezza.
Omwogezi wa ONC Dr. Brenda Tibamwenda yategezezza nti buli maka gawereddwa enkoko 200, embuzi ez’olulyo 2 enkazi ne nsajja, ensawo ze mmere ye ya nkoko 15, entambula ya 40,000 saako ne ddagala.
Yagambye nti bagenda kuba nga bakolagana ne bitongole by’obulimi n’obulunzi mu ma Disitulikiti gye bagenda okugaba ebintu bino okusobola okulaba nga bilabirirwa bulungi saako n’obujjanjabi.
Abatuuze abaaganyuddwa mu ntekateeka eno basiimye omukulembeze we Ggwanga era ne basuubiza okumuwa obuwagizi nga okulonda kutuuse.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com