Gen. Edward Katumba Wamala nga ye Minisita we by’entambula ne nguudo ategezezza ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola emirimu mu bitongole bya Gavumenti COSASE nti n’olunaku n’olumu ye talina lukusa lulemesa Pulezidenti kulonda muntu gwaba ayagala okukulembera ekitongole kyonna nga ne kye nnyonyi mwokitwalidde.
Katumba agamba nti omukyala Jennifer Bamutulaki yalondebwa omukulembeze we Ggwanga nga naye Minisita Katumba bwe yalondebwa, kyagamba nti yalina okulaba nga akolagana naye okusobola okutambuza omulimu ogwali gumuwereddwa era naasubiza akakiiko nti buli kimu kijja kuterera bulungi.
Katumba okujja mu kakiiko kidiridde akakulira Hon. Joel Senyonyi okumuwandiikira mu butongole nga amusaba ajje atangaaze ku mivuyo egyetobekedde mu kkampuni ye nnyonyi ye Ggwanga Uganda Airlines, omuli okukozesa obubi ensimbi, okufiiriza e Ggwanga ensimbi empitirivu, emisaala eminene ennyo egifunibwa abagikulira, saako n’okuba nti abamu ku bakungu tebalina bisanyizo bibasobozesa kukola mirimu mu kkampuni eno.
Katumba ayongedde nategeeza nti ekitongole kye nnyonyi akikulira yalondebwa Pulezidenti nga mu mbeera eyo ye nga Minisita alina kulaba nga akolagana nooyo amuwereddwa okuwereza naye.
Yakakasizza akakiiko nti Jennifer Bamutulaki alina obusobozi bwonna okuddukanya ekitongole kye nnyonyi, era nategeeza nti yandibadde ajja mu kakiiko naye mu kiseera kino akyalina emirimu ebweru we Ggwanga gyabadde yategeka egitayinza kusazibwamu.
Kino kyaddirira alipoota y’omubalirizi we bitabo okulaga nti ensimbi mpitirivu ezitokomoka mu kitongole kye nnyonyi ye Ggwanga era nga ne misaala egyali giwebwa abakozi mu kitongole kino gyali miyitirivu ate nga tewali magoba ge baali bakola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com