OMUSUUBUZI omwatikirivu mu Kampala Hamis kiggundu avuddeyo natabukira ekitongole ky’obwaKabaka ekivunanyizibwa ku ttaka Buganda Land Board kyagamba nti muno mufumbekeddemu abakozi abatali beerufu n’akamu.
Ham okuvaayo mu mbeera eno kiddiridde okusika omuguwa okuliwo ku ttaka lyagamba nti alirinako obwannanyini mu bitundu kye Kigo mu Wakiso ate nga mungeri yeemu ne kitongole kye ttaka eky’obwaKabaka nakyo kigamba nti lya Kabaka.
Ettakka elitabudde embeera liri ku Block 273-Kyadondo wakati wa Wooteeri ya Serena Kigo ne Mirembe Villaz.
Ono anokoddeyo omu ku bakozi mu kitongole kya Buganda Land Board amanyiddwanga Bashir Kizito gwagamba nti ono yasinze okuwabya saako n’okuteekawo obutali bulambulukufu mu nsonga ze ttaka lyagamba nti lya Gavumenti (Public Land) era nti ye Ham yalifuna mu makubo matuufu.
“Omuvubuka oyo yaakulira eby’okupunta ettaka ly’obwakabaka, ate era nga akola mu kitongole kye bye ttaka mu Disitulikiti ye Wakiso nga kitegeeza nti yaalina obuvunanyizibwa okukola alipoota egenda e Mengo mu bwaKabaka, yalina okugitunulamu alabe ebikunukkidde nga tanagitwala ku Disitulikiti we bafulumiza ebyapa ate mu ngeri yeemu era yalina okumanya nti esaanidde okuyitamu ye omuntu omu kino tekisoboka” Hamis Kiggundu bwe yagambye.
Yanyonyodde nti bwe kiba bwe kiti kitegeeza nti Kizito aba n’akakwate ku nsonga ze ttaka lye Kigo mu mateeka aba tasanidde kukola mirimu gy’ombiriri, nasaba abakulu mu Bwakabaka okutunula mu nsonga ze saako n’okunonyereza ku Bashir Kizito amateeka gakole omulimu gwago.
“Abantu nga bano era bagenze mu maaso ne bateekawo olukonko wakati wange n’obwaKabaka ekitali kilungi kubanga nze ettaka elyange ssi lya Mayiro, ebyapa byange bilaga bulungi nti ettaka nalifuna kuva mu Gavumenti (Free Hold) lwaki aba Buganda Land Board tebakkiriza wabeewo okuggulawo empenda buli omu amanye wayita mu bulambulukufu okusinga okudda ku mu mawulire saako n’okunangira nti ndaba Kabaka wange mu kamwa nga nkayanira ebyange bye mwagala okutwala” Kiggundu bwe yakaayanye ku lw’okubiri.
Yalayidde okufafagana ne be yayise abafere abekweka mu linnya lya Kabaka okumulwanyisa nga ekituufu bakimanyi.
Gye buvuddeko omwogezi w’obwaKabaka Noah Kiyimba yavaayo nategeeza nga bwe batagenda kuwaayo ttaka eri Ham Kiggundu nti kubanga baali balina obujulizi bwonna nti lya BwaKabaka.
Ensonga ze nkayana ku ttaka wakati wa Ham Kiggundu saako ne kitongole ky’obwaKabaka eky’ettaka bwatandika emyezi 2 emabega, kyokka bugenze busajjuka okutuuka mu mbuga za mateeka gye bali mu kiseera kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com