Omukungu okuva mu kitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority James Malinzi avuddeyo n’alabula abasubuzi abebulakanya okuwa omusolo nti bwe batakikola bandimaliriza nga basasudde omusolo ate ogutajja mu bya busubuzi bwabwe.
Malinzi agamba nti kino kiva ku basuubuzi okulemererwa okukuuma ebitabo bya bizenesi zabwe olwo ne balemererwa okwawula ensimbi z’ebataddemu nga batandiika emirimu n’amagoba ate nga ganno ge gavaako omusolo, nga kino abawooza b’omusolo kwe basinzira okukubuulira ensimbi z’olina okuwa nga bwobeera tobirina bo bakungerekera nga bwe basanze.
Bino yabyogeredde ku kyalo Ggunga ekisangimbwa Mu kibuga Mukono bwe yabadde asomesa abasubuuzi abenjawulo bwe babadde boloseza ebintu ebyenjawulo bye bakola saako n’okutundu nga bino bikolebwa wanno Uganda munkola Buy Uganda Build Uganda nategezza nti omusubuzi yenna ne bweyebuzabuza atya newayita emyaka abeera alina okusasula omusolo ogwo ate ebiseera ebisinga ekimuberera ekizibu ennyo.
Ono agenze mu maaso aba famire ababeera bakoze bizinesi ezawamu okuteesaga so si omu kusalawo ye nga bwayagala bwatyo nasaba abafumbo okukolera awamu.
Abamu ku basubuzi bategezezza nti kyadibadde kirungi abantu okuwa omusolo kuba gunno ate gavumenti gwe koseza okubako ebintu ebyenjawulo okutuusa empereza mu ggwanga omuli eggundo, eddagala mu malwaliro, Amasanyalaze n’ebirala, kyokka nebasaba abo bagusoloza okukuganya ogusanidde.
Ku mbeera y’ebyefuna eyekanamye saako n’ebeeyi ya mafuta eri wagulu ennyo abamu ku basubuzi balaze okunyolwa ne bategezza nga kati bwebakolera mu kufirwa nga batekamu kingi nebafuna kitono, nebasaba gavumenti okulaba netekawo ensimbi kiyambe emiwendo gya mafuta okuka wansi saako n’okutekawo omuwendo ogwesalira eri amasundiro nga mafuta.
Bano era baakukulumidde gavumenti olw’obutafayo ku bantu ba wansi kyokka nga bo buli kadde beeyogeza omusaala era nga n’ebidduka byabwe bigenda kwononeka .
Ye eyakuliddemu enteekanteeka eno Omusumba Samuel Lwandasa yasabye gavumenti okufaayo ennyo okulaba ng’efunira bannaUganda obutale ku bintu ebikolebwa wano okutundibwa e bweru wa Uganda, bwatyo nasaba abantu okukoma okunyoma emirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com