ABAZADDE basambiddwa mu biseera eby’oluwumula okuba ne mirimu egy’enjawulo omuva ensimbi gye batandikira abaana babbwe sso ssi kubaleka kukola gy’awaka gyokka.
Bino byayogeddwa omusumba we Kkanisa ya Mt Lebanon Christian Center Church esangimbwa mu kibuga Mukono, Samuel Lwandasa bwe yabadde asisikanye abavubuka saako n’abayizi mu musomu ekkanisa gwe yategese okusobola okubangula abavubuka okubako ebintu eby’enjawulo bye basobola okukola mu biseera nga bali mu luwummula.
Omusumba Lwandasa agamba nti kye kiseera abazadde okutandika okutekerawo abaana babwe ebintu eby’enjawulo omuli okulunda enkoko, Sekoko, obumyu, okusimba ebitooke n’ebirala, nga bino bisobola okubayambako okufunamu ensimbi ze basobola okukozesa okungulamu ebintu ebibayambako mu kudda ku massomero saako n’okubasasulira ebisale bye ssomero.
Ono yagenze mu maaso nategezza nti mu biseera bya baana okuddayo okusoma waberawo okwelalikirira kungi eri abazadde nga singa omuzadde abeera afuddeyo okuyingiriza omwana okukukola emirimu egy’enjawulo naafunamu ku nsimbi zimuyambako okusasula ebisale.
Abavubuka saako ab’etabye mu lusisirika luno baawereddwa ensimbi zibayambeko mu kubaako emirimu egy’enjawulo gye beetandikirawo.
Grace Kigwe nga y’akulembera abavubuka mu kanisa eno yategezezza nti abavubuka bangi mu biseera by’oluwumula babeera tebalina kyebakola ekibaletera okukalubirirwa nga ebiseera eby’okudda ku ssomero bituuse, ye nsonga lwaki bavuddeyo n’okubangulwa kuno
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com