OMUBAKA akiikirira ebizinga bye Buvuma mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu Robert Migadde Ndugwa agamba nti agenda kuwandiisa ekibiina ekigatta abavubi mu Ggwanga mu kawefube gwe balimu okusobola okweddabulula saako n’okulwanirira omulimu gwabwe.
Ekibiina kino kigenda kwawukanako n’ekyo ekiliwo kati ekimanyiddwanga Association of Fishers and Lake Users of Uganda (AFALU) abavubi kye bagamba nti kino kyava dda ku mulamwa ogw’akitandisa abakulembeze ne basalawo kukola byabwe.
Omubaka Migadde agambye nti yoomu ku bavubi abato abaaliwo nga ekibiina kya AFALU kitandika, era nga egimu ku milamwa egy’akitandisaawo mwalimu okulwanirira omulimu gw’obuvubi, okusomesa abavubi okwewala envuba embi, okubayigiriza okutereka n’okwewola basobole okutambuza omulimu gwabwe nga bafunamu ne bilala.
Ono agamba nti okuva ekibiina kino abakulembeze baakyo bwe baakikyusa ne bakifuula ekitongole ky’obwanakyewa (NGO) ebintu byakyuka byonna era nga kati abakulembeze bakola mirimu milala nnyo abavubi mwe batasobola yadde okuyambibwa, nga kyetaagisa ekibiina ekilala nga kino kye kijja okusobola okuddayo ku nnono okutambuzibwa obuvubi awo banyini kyo balyoke bafunemu.
“Mukiseera kino nze nkulembera olukiiko olugatta abava mu bitundu ebilimu ennyanja mu Palimenti, (The parliamentary Forum on fisheries) era nfuna ebilowoozo n’okwemulugunya kungi okuva mu bavubi okwetoloola e Ggwanga lyonna, kino nkizudde nti abavubi beetaaga ekibiina ekibagatta okusobola okuwulira ensonga zaabwe era zikolweko.
Baganda baffe aba AFALU kyewunyisa nti ate obasanga beenyigidde ne mu kukola ebikwekweto n’amaggye, nga bino bivaamu ate okukwata banaabwe be bandibadde basooka okusomesa akabi akali mu kuvuba obubi ogenda okwesanga nga bangi bafiiriziddwa ate be bayita banaabwe” Migadde bwe yategezezza mu mboozi eyakafubo ne WACCHDOGUGANDA.COM ku mande.
Yayongeddeko nti nga bwe waliwo ebibiina ebigatta abalimi be bikajjo ne mwaanyi nga muno abalimi mwe bayita okutuusa ensonga zaabwe eri Gavumenti bwe wasaana wabeewo ne ky’abavubi mwe beegattira kubanga balina ebizibu bingi eby’etaaga okukwatibwako Gavumenti mu kiseera kino.
“Twetaaga okutandikawo Factory zaffe nga abavubi okusobola okuyambagana mu mulimu gwaffe, okutereka n’owewola enjaogera y’okulya ekivubi eggwewo, ate n’okwegatta mu manvuuli emu ffenna eddoboozi luyaffe ly’ongere okuwulirwa
Ekibiina kino kisuubirwa okwegattirwamu abavubi abasoba mu 50,000 okwetolola e Ggwanga lyonna era tugenda kukiwandiisa mu banga elitali lya wala” Migadde bwe yayongeddeko.
Abavubi baludde ebbanga nga beemulugunya ku kibiina kya AFALU n’okusingira ddala Ssentebe Godfrey Kambugu gwe bagamba nti ono tafuddeyo kubalwanirira naddala mu kiseera nga batulugunyizibwa ab’ebyokwerinda.
Kambugu mu kwanukula ku nsonga eziruma abavubi yagambye nti byonna bya bufuzi ebizze engeri gye banatera okukyusa obukulembeze.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com