ABASUUBUZI abakolera mu katale akanene mu Kibuga kye Mukono akamanyiddwanga Kame Valley Market bakukkulumidde abakulembeze ba Munisipaari ye Mukono be bagambye nti bano basazeewo okulagajjalira akatale mwe bakolera emirimu ne kafuuka ekyenyinyalwa.
Bano bagamba nti ekifo kino kyali kyeyagaza ku mirembe gya bakulembeze abaayita nti kyokka mu kisanja kino buli kimu mu katale tekyegombesa.
Ebinnya ebiri mu mu Luguudo oluyita wakati mu katale oyinza okugamba nti oluguudo lwe luli mu binnya, enfuufu empitirivu esibuka ku bidduka ebiyita eno, omugotteko, nga kwotadde ne bisooto enkuba bw’etonnya.
Abasuubuzi be ngoye mu katale kano bategezezza nti tebakyafuna magoba ku ngoye ze basuubula, olw’enfuufu eziyiikako ekiddirira kuzitunda layisi kubanga abazigula baba balowooza nti nkadde eziwedde emirimu.
Charles Senfuma nga ono musuubuzi wa Radio mu katale kano agamba nti ebintu bye batunda tebikyalabika olw’ensonga nti bwotabibikkako matundubaali enfuufu n’olufufugge byonna biggwera omwo.
“Abakulembeze abaaliko emabega bwe twabakubiranga omulanga baddukanga zambwa ne bajja mu katale okuwulira ensonga zaffe kyokka omulembe guno ogwa Meeya Erisa Nkoyoyo tebawuliriza ne bwe tubeekubako, tutera kubalaba nga bazze kwogera ku bya mpooza kyokka nga bwe tbategeeza ensonga ezituluma tebafaayo” Senfuma bwe yagambye.
Harriet Nabakooza atunda amatooke ne nnyanya yategezezza nti abakyala mu katale kano by’okweyonja baabivaako dda, nti kuba ne bwe bajja nga bambadde bulungiko okusikiriza ababagulako ebyamaguzi, oluba okutuuka mu katale nga enfuufu ebakwata ne kilowozesa abaguzi nti bakyafu.
Baasabye Meeya wa Mukono Erisa Mukasa Nkoyoyo n’olukiiko lwe lwonna okuvaayo baddabirize oluguudo oluyita wansi mu Katale kaabwe saako n’okulongooza ebifo we bakolera kye bagambye nti kijja kuzza abaguzi mu katale ababadde batandise okukebalama.
Ye Meeya Nkoyoyo bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti ensonga z’oluguudo olwo zonna yamaze dda okuziloopa ewa Minisita avunanyizibwa ku nguudo ne bye ntambula Gen. Edward Katumba Wamala, eyabasuubizza okulukolako mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno.
“Abasuubuzi bange nsaba bagume kubanga nange ntera okuyitayo tebinsanyusa wabula tulwana bwezizingirire okulaba nga tutaasa abantu baffe,, ssi olwo lwokka wabula ne nguudo endala zonna twamaze dda okuziloopa mu Gavumenti era nga tusuubira nti engeri Munisipaari ye Mukono gye baagigasse ku Kampala Metropolitan Area enguudo embi zigenda kufuuka lufumo mu Mukono” Nkoyoyo bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com