OMUVUBUKA Simon Musisi Wesonga 34, eyegulidde elinnya mu kukola engatto ze ssomero mu maliba ezimanyiddwa nga WESON shoes ezaagalwa ennyo abazadde tumukuletedde.
Ono Takoma ku kukola ngatto za massomero zokka wabula akola ne bika ebilala ebyagalwa abantu mu Uganda ne bweru we ggwanga.
Muno mulimu ebika okuli Leather Shoes ez’abasajja, Crafts oba ziyite engatto enyangu yangu, Ensawo z’abakyala ne z’amassomero, Key Holders buyite obukwata ebisumuluzo, emisipi ne bilala mu buyiiya obwekitalo.
Wesonga nga musajja muyivu ddala agamba nti ekirowoozo kino yakitandika oluvanyuma lw’okuba nti yali mutembeeyi wa ngatto, naagenda nga yetegereza obuyiiya abakozi baazo bwe baali bakozesa, naye kwekutandika okujjayo ekitone kye.
Mu kiseera kino Wesonga yatandikawo kkampuni ye ngatto emanyiddwa nga WESON SHOES Uganda Limited nga eno amakanda egasimbye ku kyalo Kikooza mu kibuga kye Mukono.
Ono era yafuna ebyuma eby’eyambisibwa mu kutunga, okuyoyoota saako n’okugatta engatto ezabuli kika, era nga amassomero n’abantu sekinoomu bajja ku kkampuni ye ne bapimisa engatto ze baagala.
Mu kunyumyamu naye Wesonga agamba nti kino yakikola oluvanyuma lw’okulaba nga abavubuka bangi tebalina mirimu ate nga balina amagezi agasobola okubaako kye batandikawo okufunamu ensimbi ezibayamba.
“Ekigendererwa kyange ekisinga obukulu kwe kulaba nga kkampuni eno ekulira ddala okutuuka ku mutendera gwa Factory nga tufulumya engatto nnyingi okusinga ze tufulumya kati,
Kino kijja kuyambako mu nyingiza ya sente mu nsawo zaffe saako n’abantu be tukola nabo okweyongera mu muwendo olwo ebbula lye mirimu tulimalewo” Wesonga bwe yategezezza.
Mu kiseera kino akozesa abantu 15 era nga afulumya emigogo gye ngatto egisukka mu 100 olunaku.
Yanyonyodde nti ebintu ebilala nga emisipi, ensawo ne Wallet nabyo babikola era nga byamulembe ddala, nga kwotadde n’okuddabiriza ezo eziba zikutuse n’okukaddiwa.
Yasabye ebitongole by’obwanakyewa saako n’amassomero okutuukirira kkampuni ye basobole okuteesa ku nkola y’okwambaza abayizi n’abantu ba bulijjo oba bamutuukirire ku nnamba +256703484274
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com