Bya Musasi Waffe.

OMUSAJJA abadde aludde nga anonyezebwa ku bigambibwa nti yeetaba mu kutta eyali omudumizi wa Poliisi ye Buyende ASP. Muhamed Kirumira, Amaggye gamuzindukirizza ne gamutta, ne banne abalala abawerako ne bakwatibwa.

Abudul Kateregga attiddwa oluvanyuma lwe Ggye lya UPDF elikola ogw’okuketta okukola ekikwekweto okusobola okukwata abagambibwa okuba mu kobaane ly’okutta Kirumira.

Kino kibikkuddwa Pulezidenti Museveni yenyini ku mukutu gwe ogwa facebook, kwategerezza nti amaze okufuna amawulire gayise amalungi nti omumpembe Kateregga attiddwa, ono ne banne babadde balina olukwe lwe baaluse ku nkomerero ya wiiki eno, olw’abadde lugendereddwamu okutta omu ku banene mu Gavumenti.

Museveni  ategezezza nti Kateregga yoomu ku bampembe abaali mu buyekera ne Kibiina kya ADF, nti era ono ekitongole ekikessi eky’aMaggye (CMI) kibadde kimutambulirako buli kadde.

“Mmanyi nti njogera ku lwammwe mwenna bannaUganda era nga nkulisa Amaggye olw’okukwata abagambibwa okuba nti betaba mu kutta Kirumira, ate negakola ekisoboka omumpembe Kateregga n’atasimattuka.Ono yali yaweebwa ekisonyiwo gye buvuddeko nga agambye nti yeenenya okuva mu buyekera, kyokka yasigalamu ebikolwa eby’obutemu, Nsaba mwenna abalina kye bamanyi ku kibinja kino ekya Kateregga ne banne abulire amaggye ne Poliisi.” Museveni bwe yategezezza ku mmande.

Kinajjukirwa nti Kirumira yattibwa bwe yali ava ku mukolo ogumu ne mukwano gwe, abazigu bwe bamusindirira amasasi ag’amuttirawo bwe yali anatera okutuuka mu makaage agasangibwa e Bulenga.

 

Comments