Bya Moses Kizito Buule

OBUKENKE  bweyogedde  mu ggombolola ye Ntenjeru  e Mukono oluvanyuma lw’abazigu ab’ebijambiya okuyingirira  abatuuze abalala ne babafumita ebiso ne baleka omukyala asulirira okuzaala nga ataawa.

Brendah  Nabukenya  omutuuze  ku  kyalo  Bugolombe mu muluka gwe Ntanzi ye yasimatuuse  abatemu kiro   eky’akesezza  olw’okusatu  bwe  babayingiridde  mu nyumba mwasula ne nyina saako n’abaane be ababiri mu  budde obw’ekiro  nebatandiika  okumukanda   ensimbi ze yabadde talina mu kiseera ekyo.

Nabukenya  ow’olubuto olw’emyezi omusanvu  eyasangiddwa mu ddwaliro   lya  Kojja Health Center IV, yategezezza nti  babadde mu ddiiro ekiro  nga  balya  ekyeggulo omusajja  kwe kusamba  oluggi  n’eyesogga mu nju munda amangu ago yasiseeyo ekiso nga kitemagana  n’atandika okubasaba ensimbi saako n’essimu era n’abategeeza nti singa bibalema yabadde w’akubasanjaga bonna.

Nabukenya naye eyafumitiddwa mu lubuto.

“ Yalabye tetwenyenya n’asalawo okukwata omwana wange ow’emyaka 12 n’agezaako okugenda naye, kyokka ffena twalabye guli gutyo ne tutandika okw’elwanako nga tukozesa ebintu eby’atubadde okumpi, era wano we n’akwatidde akasigiri akabadde kaayatika ne nkamukuba ku mutwe awo n’asuula omwana nadduka.”Nabukenya  bwategezezza.

Nabukenya agamba nti  mu kiseera kino awulira nga okugulu kumuluma nnyo, era nga tasobola yadde okuyimirira yadde okutambula nga waaba talina amuyambako byonna biba bizibu kubanga ekiso kyamuyise mu kugulu okw’akkono.

Akulira  eby’okwerinda mu ggombolola  eno  Samuel Ikomba  yagambye  nti  okumala  emyezi  mukaanga  ekitundu  kino  tekibadde mu mbeera  nungi   nga basooka n’ababbi  bente  nga   bazibba  nebazibaaga ne bazitwalira mu motooka, nga kati ekizeeko bwe butemu bwe bijambiya bye babadde bawulira obuwulizi mu bitundu ebilala.

Wanno wasambidde   abatuuze  okulaba  nga  bafaayo  nnyo  kuby’okwerinda mu kitundu  kyabwe, nategezza  nti  yadde nga  bo nti bebalina  obuvunanyizibwa  bw’okubakuma  naye ate nabo  balina  okufaayo   ennyo .

Yagambye nti balowooza nti obutemu buvudde ku bbula ly’emirimu eliri mu kitundu kino, nga kati abavubuka bangi tebalina bye bakola oluvanyuma lw’okugobwa mu bibuga ne ku nnyanja gye babadde bakolera okusobola okufuna ensimbi ezibabezaawo.

 

Comments