Bya Moses Kizito Buule

AKULIRA eby’enjigiriza mu Disituikiti ye Hoima Godfrey Sserwanja alabudde abalambuzi ba massomero mu kitundu ekyo okukomya okutuula obutuuzi ne tebayitayo mu massomero, kyagambye nti kye kivuddeko omutindo gwe by’enjigiriza okukka mu massomero ga  Gavumenti.

Sserwanja agamba nti essomero ye Mulambuzi waalyo ate n’omulambuzi lye ssomero nga mu kyo omulambuzi wa massomero bw’aba omubi era tusuubira massomero mabi wabula bwaba omulungi n’amassomero gaba malungi, kubanga waba tewali kiyinza kugenda mu maaso saako n’okutambuza amawulire wakati we ssomero n’abatwala eby’enjigiriza.

“Ffe kati tumanya tutya ebizibu ebili mu massomero ssinga mwe abagalambula temututegezezzaako, ate n’ekilala mwe mulina okuteekamu amaanyi mu bakulu ba massomero basobole okutukiriza eby’etaago byonna omuli okulabirira abaana, ebizimbe, obuyonjo bwe ssomero ne bilala.” Sserwanja bwe yagambye

Okw’ogera bino yabadde mu lukiiko olw’ategekeddwa ekitongole eky’okuntikko mu Ggwanga ekikola ku kulambula amassomero ku mande, olw’abadde ku ssomero lya Kitala Secondry school mu Kibuga kye Hoima, n’omulamwa ogw’okutekawo okulambula okw’omutindo okusobola okusitula eby’enjigiriza mu Ggwanga.

Abalambuzi ba massomero mu Disitulikiti ye Hoima mu offisi y’akulira abakozi.

Yasabye abalambuzi ba massomero okukomya omuze ogw’okujja obusente sente mu massomero olwo ne baleka nga ebintu tebigenda bulungi, kye yagambye nti kiviriddeko omutindo gwe by’enjigiriza okukka mu massomero ga Gavumenti.

“Kituufu tukimanyi naffe nti ensimbi mufuna ntono nnyo naddala mu by’entambula saako n’ebyetagisa mu kukola omulimu gwamwe ebilala naye tubasaba muleme kuggwamu maanyi kubanga eby’enjigiriza bwe bitabaawo ne nsi eba tebaawo” Serwanja bwe yayongeddeko.

Ye akulira abalambuzi ba massomero mu Ggwanga lyonna Sadress Turyagyenda yasabye bonna abakola mu by’enjigiriza okufaayo okulaba nga batekawo enkola y’okulondoola abasomesa okulabira ddala oba basomesa ebyo byennyini ebili mu lukalala lwe bilina okusomesebwa omwaka ogwo saako n’okulaba nga ebikozesebwa abayizi babiganyulwemu.

Comments