EBY’OBUFUZI Katonda bwakukwatirako osobola okuyita mu buli kintu nga teri kikutataaganyizza, Embeera eno yeyolekedde mu kitundu kya Mukono North ekitundu ekikiikirirwa Minisita wa mazzi Ronald Kibuule.
Emabega yonna Kibuule abadde avuganyizibwa bannakibiina kya NRM, era nga mu mwaka gwa 2011 nga yavuganya mu kalulu akaali akakassameeme ne Mwami Kaweesa Ssengendo era nasobola okumuwangula yadde yalabika nga yali akyali mulenzi muto ddala.
Mu kulonda kwa 2016 Kibuule era yaddamu okwetaba mu kamyufu ke Kibiina naavuganya ne munnamateeka Nsubuga Keneth Sebagayunga mu kuvuganya okwali okwa vvawo mpitewo, kyokka naasobola okumuwangula, wabula Nsubuga natamatira naakomawo ne mu kalulu ka bonna era naddamu namuwangula.
Bwe lutuukidde olwaleero nga kimaze okutegerekeka nga munnamateeka Nsubuga yasalawo obutadda mu kamyufu ka NRM, yadde nga talambulula oba ne mu kalulu ka bonna akomawo okuvuganya muvubuka munne Kibuule.
Kino kyaletera endowooza endala mu balonzi be Mukono North nti olaba Nsubuga ava mu kalulu akamyufu kati kibuule waakumeny mu jjenje kkalu mu kulonda kwa 2021.
Baali bakyali ku Nsubuga kuva mu kalulu ate ne zireeta Yahaya Were nga ono ye mumyuka wa RDC we Tororo naye naatimba ebipande ebilaga nti agenda kuvuganya Kibuule mu kamyufu, era abalonzi ba NRM abaali batawagira kibuule ne basagambiza nga bagamba nti kuluno balina okumulagako akalulu kye kiki.
Wabula bano bonna ebigambo byabawedde ku matama Yahaya Were naye bwe yavuddeyo nalangirira mu lujjudde nti akalulu akavuddemu era nagamba abantu nti ajja kuvuganya mu mwaka gwa 2026, ekyalese abalonzi nga beewunya katemba ali mu by’obufuzi.
Were mu kwogerako ne bannamawulire yagambye nti kituufu yabadde avuddeyo okuvuganya Kibuule, kyokka abataka mu Mukono abeebuzibwako ensonga ne bamuyita nga bamusaba alekere Omubaka Kibuule ekifo, naye kye yakkiriza mu mutima omulungi nakita.
“Nasazeewo ekifo ekyo nkiveeko kubanga abakulu bandaze munange Kibuule ebintu byakoledde abantu be Mukono North, ne tukkiriziganya nindeko emyaka emilala etaano kye ndowooza nti ssi kiwanvu nnyo” Were bwe yagambye.
Kati kitegeeza nti Kibuule aggya kuba alindiridde abalala okuli Abudallah Kiwanuka Mulimamayuuni, nabalala mu kalulu ka bonna mu 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com