EBY’OBUFUZI mu Ssaza lye Kigulu South mu Disitulikiti ye Iganga mu Busoga by’eyongedde okulinnya enkandaggo, Omuvubuka embulakalevu Luke Kisubi Mbigiti bwavuddeyo avuganye ku kifo ky’obubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu akiikirire abantu baayo.
Ekifo kino mu kiseera kino kilimu Omubaka Kiiza Andrew Kaluya, era nga Kisubi agamba nti kuluno ayagadde addeyo ewaabwe awaka abeeko byayambako ku batuuze gyazaalibwa, nga omu ku kawefube w’okubaako kyazza mu kitundu okubeebaza okumuzaala saako n’okumukuza.
Kisubi gwe twasanze ku kyalo Kakombo gyazaalibwa ekisangibwa mu muluka gwe Wailama mu Gombolola ye Nakigo e Iganga ennaku zino gyasimbye amakanda oluvanyuma lw’okunoonya akalulu okufuuka okwa Sayansi yanyumizzaamu naffe bwati;
Nzaalibwa omwami David Kisambira ne Maama Alice Jenifer Kisambira abatuuze ku Kakombo kuno kwe nnyini, era nga n’okusoma kwange nakutandikira ku kuno olwo ne neeyongerayo mu Ssomero lya Buwesa Pulayimale elisangibwa mu Tororo, nga eyo gye natuulira ekibiina ky’omusanvu era ne mpitira waggulu.
Neegatta ku ssomero lya Bukedi College Kachonga mu Butaleja eno gye natuulira siniya ey’okuna, Oluvanyuma nga mpise bulungi nasobola okweyunga ku MM College Wailaka gye natuulira siniya yange ey’omukaaga.
Ebigezo nga bikomyewo neegatta ku Ttendekero lye Makerere ne nsoma Diguli yange eyasooka mu Busomesa era ndi musomesa omutendeke.
Nasalawo okuddayo okwongera ku bitabo kubanga ekiseera ekyo kyali kya kuvuganya nnyo ku mirimu, era ne nkola Dipuloma mu by’okukulira abakozi (Post Graduate Diploma in Human Resource Management) mu Ttendekero lya UMI Uganda Management Insititute, era ne nzirayo ne nkola Diguli ey’okubiri mu mulimu gwe gumu.
Ndi musajja muyigirize era nkioleddeko mu bitongole bingi nga akulira abakozi era mu kiseera kino nze akulira abakozi mu kitongole kya AIDS HEALTH CARE FOUNDATION, nga eno okukolerayo kunyambye okwetegereza embeera abantu ba wansi mwe bayita kye njagala okukola ewaffe ku butaka gye nzaalibwa e Busoga.
Bwe nali nkola ne kitongole kya WORLD VISION era nga nze nali nkulira abakozi mu kiseera ekyo, kyampa amaanyi n’okulowooza ku mbeera abantu baffe gye bayitamu mu byalo, era ne nkizuula nti abantu bwe baba n’omukulembeze afaayo basobolera ddala okufuna obuyambi okuva mu Gavumenti ne bitongole by’obwanakyewa, kubanga twayamba abantu bangi okubafunira we basula, eky’okulya, amazzi amayojo mu bitundu byabwe saako n’okusoma kwa baana kyokka nga bakulembeze baabwe be batutuukiriranga ne ngamba nti ne waffe kisoboka.
Awo we najja omutima ne ngamba nti ekiba kibe naye nina okuddayo ewaffe mbeeko kye nkola kubanga sisobola kuyambako nnyo nga siri mukulembeze.
Nga Omuntu ewaffe nsobodde okubaako bye nkolayo mu maanyi gange nga Kisubi omuli okuyambako ku baana abanaku okusoma, okuyambako ku bibiina bya Bakyala okwekulakulanya nga nzija mu nsawo yange, naye mmanyi nti singa mpitamu kijja kuba kinyanguyira kubanga ebitongole ebiyamba abantu ebisinga mbimanyi era nababikulira tukolagana.
Kisubi byayagala okukolera abantu be Kigulu South
Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime nga akasooli, ebinyebwa ne mwanyi naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi ewaffe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere saako ne mwanyi.
Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.
Eby’obulamu e Kigulu bibadde bikyali bubi nga amalwaliro mu kitundu kino gonna mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi beeno bagafaako mu biseera byakunoonya bululu bwokka kye njagala kikome kubanga bannaKigulu South nabo bannaUganda abeetaaga okufaako nga abalala.
Ekyamazima Katonda ampadde, nga abantu bangi beetaaga okubaako bye banjigirako naddala bavubuka banange, era nga ensonga y’obwegassi egenda kuba ku mwanjo nnyo kubanga okukulakulana okw’omuggundu we kugenda okutandikira.
Okugatta abantu mu kiseera kino nsonga nayo nkulu nnyo kubanga abasinga babadde beeyawuddemu nnyo olw’ebyobufuzi ebitabayamba nga essira tugenda kuliteeka nnyo ku kubayigiriza kukola basobole okwejja mu bwavu.
Abakyala abo nina akaama kaabwe kubanga ngenda kufuba nnyo okulaba nga mbagatta wamu mu bibiina basobole okubaako kye bakola ekireeta ensimbi mu nsawo nga olwo lwe bajja okusobola okulabirira amaka gaabwe nga tebegayiridde baami ennaku zino abatafaayo mu kusomesa baana.
Enyingiza ya maka egenda kuba nsonga nkulu nnyo kubanga abantu abamu ewaffe baavu nnyo songa bambi bandiyagadde nabo okubeerako mu mbeera ennungi nga bakozesa ettaka kwe bali okulirimirako beekulakulanye.
Kisubi avuganyiza ku kaadi ye kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, songa munne Andrew Kaluya mu Palimenti yagendayo nga talina kibiina.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com