KU luno enkalu z’akunoonya obukongovule nga abakyala abatalima kambugu mu by’obufuzi bye Busoga battunka ku kifo ky’omumyuka ow’okubiri owa Ssentebe we kibiina kya NRM mu Ggwanga.
Kino kyeyolekedde mu mbeera ebaddewo olwaleero ku kitebe kye kibiina kya NRM e Kyadondo Minisita omubeezi avunanyizibwa ku ttaka Persis Namuganza bwagenze najjayo empapula z’okwesimbawo ku kifo ne sipiika Rebecca Kadaga kyavuganyako era nga mu kiseera kino ye mumyuka wa Ssentebe we kibiina omukyala ow’okubiri.
Olunaku lwe ggulo Sipiika Kadaga yajjeyo empapula okusobola okusigaza ekifo kino, kyokka olwaleero ne Namuganza naye azijjeyo nga akati abalina obuyinza okulonda be bagenda okusalawo.
Bwabadde yalkamala okujjayo empapula Namuganza ategezezza bannamawulire nti kino kye kiseera abantu abakyali mu myaka emito okuwereza ekibiina awatali kukubwa ku mukono.
Kino kilabise nga kyandyongera entalo ezibaddewo mu bantu bano bombiriri ezesigamizibwa ku kweraga eryanyi mu kitundu kya Busoga.
Kadaga ne Namuganza baludde nga tebakwatagana nga kino kyava ku nkaayana ezaaliwo mu mwaka gwa 2018 Sipiika bwe yagenda ku kitundu Namuganza gyazaalibwa ekye Bukono okutongoza amazzi nga tamutegezezaako, kyokka natakoma okwo era naatwala ne Kyabazinga mu kitundu kino nga Namuganza aleddwa bbali.
Kino kyanyiiza Namuganza naakunga abantu be Bukono okukwata amajambiya ne miggo bafubutule Kyabazinga ne Kadaga singa baddamu okugenda e Namutumba nta tategezeddwako nga omukulembeze waabwe.
Akalulu k’okulonda abakulembeze ab’okuntikko mu kibiina kya NRM ka mwezi gujja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com