ABAPOLIISI 2 abagambibwa okukanda ensimbi emitwalo 40,000 omuvubuka Hussein Walugembe nga bakutte Boda Boda ye mu kibuga kye Masaka ekyamuviirako okwetekera omuliro ne yeyokya naafa, ebintu bibononekedde, Kkooti ya Poliisi ekola ku kukwasisa empisa mu kitongole bwe basalidde omusango nti gubasinze era ne bawebwa ekibonerezo kya kugobwa mu Poliisi obulamu bwabwe bwonna.
Sgt. Julius Ewalu , wamu ne Sgt Ibrahim Ssesanga nga ono yabadde akulira ekitongole kye bidduka e Masaka be baagobeddwa mu kitongole kya Poliisi nga kigambibwa nti bano babadde basussizza okusaba abantu ensimbi ze nguzi oluvanyuma lw’okukwata ebidduka byabwe.
Babadde baakwatibwa gye buvuddeko era ne baggalirwa e Masaka ku biragiro bya Ssabapoliisi we Ggwanga, wakati nga banoonyerezebwako ku misango gyo kweyisa mu ngeri etali ya nnungamu ekontana ne nkola ye mirimu mu kitongole kya Poliisi.
Olunaku lwe ggulo Kkooti ya poliisi evunanyizibwa ku kukwasisa e mpisa mu kitongole yatudde nga ekubirizibwa Assistant Superintendent of Police David Manzi, eyagambye nti baafunye obujulizi bwonna obuluma abasilikale baabwe, era ne baaakizuula nti ddala kituufu baasaba omugenzi Walugembe ensimbi emitwalo 40000 ekyamuviirako okwekyawa ne yetekera omuliro munda mu kaddukulu ka Poliisi naafa.
Manzi yategezezza nti era baafunye amawulire amalala nti abasilikale baabwe bano babadde bagufudde muze okutulugunya abantu nga beerimbika mu kukola emirimu gy’okukwasisa amateeka ge bidduka ne babajjako ensimbi nga enguzi kye babadde bayita okubayamba, kye yagambye nti kino kyonoonye nnyo ekifananyi kya Poliisi mu Ggwanga.
Sessanga yasingisiddwa omusango gw’obulagajjavu eri omulimu gwe nga abadde akulira Poliisi ye bidduka mu Masaka, ate munne Elwalu nasingisibwa omusango gw’okusaba enguzi.
Bano bonna awatali kusaasirwa baagobeddwa mu kitongole kya Poliisi.
Bino we bijjidde nga ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavaayo nakubagiza aba Famile ya Walugembe ne nsimbi million 10 era naasuubiza okubayambako okugula ettaka we bagenda okuzimba ennyumba ya bamulekwa ba Walugembe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com