OLUVANYUMA lwe ntekateeka y’okulonda munda mu kibiina kya NRM okufulumizibwa, ebibalo ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti ye Mukono byongedde okukyuka, Haji Haruna Semakula bwavuddeyo ne yeesogga olw’okaano mu ngeri eyewunyisizza banne ababadde balulimu.
Haji Semakula ono azaalibwa mu gombolola ye Mpatta era nga mu kiseera kino ye mumyuka wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu Mukono.
Gye buvuddeko Semakula abadde avuganya ku kifo ky’obwaSsentebe bwa NRM ekilabika nga tekigenda kulondebwa, oluvanyuma lwa abakulu mu NRM okulemererwa okulambika okulonda kwo bukiiko obukulembera ekibiina obuggya mu Ggwanga lyonna.
Kati kino kyeraze lwatu nti obukiiko obukadde obubadde bwalondebwa emyaka 5 emabega tebugenda kukwatibwako era bwalekeddwa obuyinza bwonna okuddukanya emirimu gye kibiina.
Okujja kwa Haji Semakula kwewunyisizza bannaMukono kubanga yoomu ku bantu ababadde batalowozebwako mu kiseera kino kubanga buli muntu abadde amanyi nti avuganya ntebbe ya NRM.
Ensonda ziraze nti Semakula yasabiddwa abataka mu mukono okujja okwesimbawo mu lukiiko olwatudde ku lw’okutaano mu kifo ekitanategerekeka nga naye yennyini teyalubaddemu wabula yakubiddwa bukubibwa ssimu, nga bamugamba nti kuluno baagala omuntu anatwala Mukono mu maaso, saako ne nkulakulana ey’omuggundu.
Semakula bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yagambye nti tagenda kujeemera kiragiro kya bannaMukono bwe baba basazeewo abakulembere, nagamba nti atambudde Mukono yonna okugimalako wakati mu kunoonya akalulu k’obwa Ssentebe bwa NRM, kyagamba nti kimuwadde ekifaananyi butya Mukono bwafanana nabantu abamulimu kye baagala.
“Tewali kulonzalonza ekifo ngenda kukivuganya kubanga eby’etaagisa byonna mbilina era n’okweteekateka okwanganga be ngenda okuvuganya nabo nkumaze, ekiddirira kati kutegeeza bawagizi bange nti nkyusizza nabo balumbe buli nsonda yonna eya Mukono tukungaanye obuwagizi obunatuwanguza” Semakula bwe yategezezza.
Mu kiseera kino olw’okaano mulimu Ssentebe aliko kati Andrew Ssenyonga, Jonathan Mawanda saako ne Rev. Peter Bakaluba Mukasa mu kiseera kino ali ku kaadi ya DP ne People Power.
Kino era kigenda kukyusa akamyufu ke kibiina kya NRM kubanga ku luli mubaddemu abantu 2 bokka Senyonga ne Mawanda kati kitegeeza nti kweyunzeko ow’okusatu nga ye Semakula.
Abamu ku bannaMukono be twogeddeko nabo balaze essuubi mu Haji Semakula nga bagamba nti musajja agenda okuteekawo okuvuganya okwamaanyi mu kulonda okubindabinda naddala mu kibiinakya NRM.
Semakula musajja musuubuzi era ye Senkulu wa kkampuni ekola amazzi eya Hill Water.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com