ABASUMBA ba makkanisa ga balokole abawagaalira mu bizinga bye Buvuma balaze ennaku
gye bayitamu naddala mu kiseera kya COVID 19 omuli eby’etambula okwongera okukaluba saako ne ky’okulya okubeera ekizibu gye bali oluvanyuma lwenyanja okubooga n’etwala ebirime byabwe byonna.
Omusumba Tom Ogeya nga ono yoomu ku bakola ogw’okusumba abantu mu bizinga bino agamba nti e Buvuma abantu bali mu mbeera mbi nnyo kuba enkuba yatwala emmeere y’abantu yonna saako
n’amayumba era nga namaKkanisa embeera gye ssi yamulembe.
Ogeya agamba nti bwe kituuka ku bye tambula okugeza okuva e Buvuma mu lyato omuntu yetaagsia emitwalo ebbiri ate nga n’omuwendo gwa bantu abalwala buli olukya gweyogera.
Bino yabitegezezza abasumba saako n’abakulembeze abegatiira mu kibiina kyabwe ekya Love Peace and Unity Pastors Destiny Forum Uganda ekitaba abasumba ba balokole mu greater Mukono bwe babadde babakwasa obuyambi bwe mmeere ku mwalo e Kiyindi.
Bwabadde abakwasa emmere eno, omuyima we kibiina kino Omusumba Samuel Lwandasa
yategezezza ng’ekibiina kino bwekikwasaganyiza awamu ne kampuni ya Biyinzika
Enterprises n’ebaasalawo okuddukirira abasumba mu greater Mukono yonna omuli
Buvuma, Buikwe, Kayunga Saako ne Mukono oluvanyuma lw’okufuna amassimu
agenjawulo ng’abasumba balajjana olw’okubulwa eky’okulya.
Lwandasa yagenze mu maaso naasaba abantu okukimanya nti obulwadde gye buli bwatyo
nasiima omukulembeze we Ggwanga , abasawo saako n’abantu abenjawulo olw’okufuba
ennyo okulwanyisa ekilwadde kino.
Bo abantu abenjawulo abawereddwa ebintu omubadde akawunga saako ne
sabuni baasimye omusumba Lwandasa ne Kkampuni ya Biyinzika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com