ENKALU ku luno zaakunoonya obukongovule mu Disitulikiti ye Mukono ku kifo kya Ssentebe wa NRM.
Ennaku zino okunoonya akalulu n’okuvuganya kwamaanyi nnyo okusinga okuli ku bifo ebilala byonna, ekileseewo okwebuuza mu bantu be Mukono nti oba oli awo ekifo kino kyamaanyi nnyo ate nga gye buvuddeko kibadde tekitunuulirwa nnyo.
Embiranyi eri wakati wa bantu 2 okuli Haji Haruna Ssemakula saako ne munywanyi we Haji Umaru Ddumba nga bano bonna basuubuzi batutumufu mu Mukono ne Kampala.
Haji Ssemakula ye Ssenkulu wa kkampuni ekola amazzi eya Hill Water, ate Haji Ddumba ye nannyinni semadduuka atunda ebizimbisibwa emanyiddwa nga DDUNA Hardware esangibwa mu Mukono ne Kampala, nga kwotadde ne byuma bye mwanyi ebiwerako.
Ebintu bingi ebigatta abavuganya bano nga ojjeeko okuba abasuubuzi abatutumufu era nga bakkiririza mu ddiini ya kiyisiraamu, bonna era bali ku lukiiko olufuzi olwe kibiina kya NRM mu Mukono.
Haji Ssemakula ye mumyuka wa Ssentebe wa Disitulikiti owa NRM ate Haji Ddumba ye muwanika we kibiina omulimu gwamazeeko emyaka kati 10 nga awereza wansi wa Haji Twahir Ssebaggala alabika nga takomawo ku kifo kino.
Ennaku zino buli omu atambula wakati mu kunoonya obuwagizi era nga bawetrekerwako ba Ssenteba ba magombolola buli gye balaga ekikakasa abalonzi nti bonna entebbe bagyetaagira ddala.
Haji Ssemakula bwe yabadde mu gombolola gyazaalibwa eye Mpatta yagambye nti ayagala okulaba nga abantu ba NRM bonna bafiibwako kyenkanyi kubanga be bali mu kibiina ekiri mu buyinza kyagamba nti luli tekibaddewo nga bannaNRM bafiibwako nga obululu butuuse.
Agamba nti okutondawo emirimu nsonga nkulu nnyo kubanga abavubuka bangi mu Mukono tebalina mirimu, kyagamba nti kino kyekivuddeko obwavu n’obutali butebenkevu okwefuga Mukono.
Ba Ssentebe ba magombolola abagenda okulondebwa yabakubye akaama nti bwaba ayiseemu bonna agenda kubawa Pikipiki empya ttuku basobole okutambuza emirimu gye kibiina nga basanyufu n’omukulembeze we Ggwanga kwanabongereza, eky’ongedde ebbugumu mu kalulu kano.
Ye Haji Ddumba bwabaddenga asisinkanye abantu abadde abategeeza nga bwagenda okulaba nga agatta bannakibiina mu kiseera kino abawagusewaguse nga agamba nti yadde abadde ku lukiiko olufuzi nti naye ssi yabadde Ssentebe, nga kati ssinga bannaNRM bamukwasa enkata ajja kutereeza buli kimu.
Okwogereza ababadde bannakibiina abagenda Ddumba agamba nti nsonga nkulu nnyo kubanga bonna babeetaaga kubanga ekibiina kiggumira bantu.
Bonna bawera nti bwe bababakwasibbwa entebe ya NRM eya Disituliki bagenda kulaba nga buli munnaNRM we yesimbye awangula.
Bano era bonna balimi nga Haji Ddumba alimira ku kyalo Makukuba ekisangibwa mu gomolola ye Nabbalae gy’azaalibwa, ate nga ne Ssemakula naye alimira mu Gombolola ye Mpatta naye gyazaalibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com