MUNNAMAWULIRE Justine Namere era nga yakuguka ne mu mateeka asoomozezza banne bwe bali mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa bavubuka mu Buganda, nabasaba nabo balage wa gye bazaalibwa nababazaala.
Namere asinzidde ku mukutu gwe omugatta bantu, nategeeza nga bwaali omukyala omuganda ddala eyeddira envubu, era naalaga ne bajjajjaabe bonna nga omuganda nakabala.
Namere bwati bwalambuludde;
Ndi muzzukulu w’omugenzi Kimbira Musaala Deogracious agalamidde e Lukaya Kalungu era ndi muzzukulu w’omugenzi Ssemutenga Kapere Bulayimu Makanika agalamidde) e Lukaya Kalungu, Kaliiro mu Kapere era ndi muzzukulu wa Liiso Lya Ngabi agalamidde e Ssese.
Nva munnyumba ya Bamulangaki Vincent Ssempijja e Lukaya, Kapere, Kaliiro e Kalungu mu ssaza lya Ssabasajja Buddu.
Nsibuka mu luggya lwa Jjajjange Bulayimu Kapere Ssemutenga Makanika; Mu Lunnyiriri lwa Ssempijja ku lw’Entebe mu Busiro; Mu mutuba gwa Bulayimu Kapere; Mu sigga lya Nkambo Kasoma e Zziru e Busiro.
JJAJJANGE OW’AKASOLYA YE KAYITA; ndi Muzzukulu wa Kayita e Mbazzi mu Kyaggwe! Oyo ye mukulu w’ekika kyaffe eky’envubu era yangatta ku Ssabasajja Kabaka Maggulunyonndo, Ssabalongo!
Neddira Nvubu Akabbiro Njovu! Omubala gwaffe guvuga nti “mu nyanja weddira muki? Nvubu! Mu nyanja weddira muki? Nvubu! Obudde bunzibiridde, ssula! Bw’ompa akawala ako ng’omazze!”
Mmange anzaala ye Mugenzi Jane Francis Birabwa Ssempijja agalamidde e Kapere, Kaliiro, Lukaya mu Kalungu, muwala wa Kamanda Mulera e Bukaala, Masaka; muzzukulu wa Kamanda Mulera e Bukaala, Masaka.
Jjajja omukyala azaala kitange ye Federeesi Nayiga Kimbira Muzzukulu wa Yuliyaana Bawanguzi e Lwannume, Kyamuliibwa mu Kalungu.
Jjaja omukyala azaala mmange ye Malita Barungi muzzukulu wa Gabudyeeri Matte e Kiganda, Mubende.
Siri mufumbo naye nga Mukama yemubeezi nja kubutuukako. Ndi mukyala muzadde era Mukama yakampa ezzadde ly’omuwala n’omulenzi.
Ndi Mukyala Muganda wawu era njagala nnyo Obuganda ne Ssabasajja Kabaka! Ndi mukyala Munnamateeka era mungu yansaasira nampa netalanta eyokukola ku Ttivi. Ndi mulwanyirizi w’eddembe ly’abantu naddala abatalina mwasiirizi era ndi munnabyabufuzi.
Akasiisiira kange kali Najjeera mu ssazza lya Ssabasajja erye Kyadondo.
Ssabasajja Kabaka awaangaale ne Maama Nabagereka agerekere Obuganda.
Nnanyimu gundagunda, Baffe ondabiranga ddala!
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com