MUNNAMAGGYE abadde omwatikirivu Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga yafudde ku makya g’olwokubiri mu ddwaliro e Nakasero oluvanyuma lw’okumala akabanga nga atawanyizibwa obulwadde obwamuviirako okuba nti abadde tassa bulungi.
Munnamaggye ono yazaalibwa mu mwaka gwa 1952 mu gombolola ye Maanyi mu Mityana era nga wafiiridde nga alina emyaka 67.
Yasomera mu ssomero lya Katakala Pulayimale, eyo gye yava nagenda e Kibuli SS mu Kampala gye yatuulira siniya ey’okuna, bwe yagimala ne yegatta ku Ggye lye Ggwanga mu mwaka gwa 1972.
Olwamala okukuguka mu Maggye yatwalibwa mu bitundu bya Arua nga akola omulimu gw’okusoma Maapu okutuusa mu mwaka gwa 1977, oluvanyuma n’atendekebwa okukozesa emmundu ennene era nakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Staff Sergeant.
Mu mwaka gwa 1978 amaggye ge ggwanga lya Tanzania gaalumba Uganda ne gawamba ekibuga Kampala ne gajjako Gavumenti ya Idi Amin Ggwanga yoomu ku baselikale abewaayo mu mikono gya bamaggye era naatwalibwa e Tanga mu Tanzania gye baamusibira ne banne.
Mu mwezi gw’omukaaga 1980 eyali omukulembeze wa Uganda mu kiseera ekyo Godfrey Lukongwa Binaisa yatandika enteseganya ne Ggwanga lya Tanzania okusobola okuta bannamaggye ba Uganda wakiri basibibwe okwabwe oluvanyuama ekyatuukirira.
Kasirye ne Banne baakomezebwawo mu Uganda era ne bazooka okuteekebwa mu kkomera lye Muluku mu Mbale oluvanyuma ne bongerwayo e Kirinya mu Jinja ne kyaddirira kuteebwa mu butongole nga 7 October 1981.
Nga wayise emyezi 3 Kasirye ne banne nga batereddwa basalawo okwegatta ku kibinja kya bayekera ekya Uganda Freedom Army UFA ekyali kikulemberwa omugenzi Andrew Kayiira era ne balumba Balakisi za maggye ezawerako nga neyali mu Lubiri lwe Mengo mwogitwalidde.
Eno omulimu omukulu gwe baakola mwalimu okuta buli musibe eyali mu Lubiri, era yatekebwa ku lukalala lwa bayekera abaali beetagibwa mu kiseera ekyo ekyamuletera okubombo nabulawo okumala akaseera.
Mu Kiseera ekyo mukulu we Lieutenant James Kasirye eyali omuvuzi we nnyonyi mu maggye yakwatibwa natulugunyizibwa byakitalo nga alangibwa okubuuzaawo mutoowe Kasirye Ggwanga, era oluvanyuma yattibwa naye nga tayogedde mutoowe we yali yekwese.
Kino kyayongera okutabula Ggwanga era bwe yakukunuka gye yali yekwese neyeyongera obukambwe naddayo ne yegatta mu kibinja kya Kayiira UFA nabalala 650 ne bayingira ebibira bye Mawokota ne Mubende ne beyongerayo mu maaso n’okulwanyisa Gavumenti eyali mu buyinza.
Mu mwaka gwa 1985 Ggwanga yegatta ku bayekera ba NRA abaali bakulemberwa Yoweri Kaguta Museveni ne balwana okutuusa lwe bawamba mu 1986 era nga mu kiseera ekyo ye yali akulira ekibinja ekyali kikozesa emmundu ennene.
Okuva mu mwaka gwa 1986 okutuuka mu 2005 Ggwanga yakolera mu bifo bingi omwali n’okubeera Ssentebe wa Disitulikiti ye Mubende, era nga yakulirako ne Sitoowa za UPDF.
Nga 31 January Ggwanga yawummuzibwa mu maggye ku ddaala lya Brigadier, kyokka ekyewunyisa nga wayise emyezi 3 yasaba omuduumizi we maggye akomezebwewo awereze era nakkirizibwa naaaweebwa ne kontulakita ya myaka 5.
Mu 2018 Kasirye Ggwanga yakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Major General era nawummuzibwa mu maggye mu butongole.
Ono abadde mulimi omukuukutivu ku kyalo Banda Kyandaaza mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono, eno nga ennimiro ye emanyiddwanga Camp David Farm.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com