ABABAKA 6 abaali baalondebwa okukiikirira ebibuga eby’enjawulo eby’atondebwawo nga okulonda kwa 2016 kuwedde kyadaaki bagobeddwa mu butongole kkooti ensukkulumu gye baali baddukira bataasibwe oluvanyuma lwa kkooti ya Ssemateeka okusalawo nga bano bwe bali mu lukiiko lwe ggwanga mu bukyamu.
Kati abatakyali babaka kuliko Asuman Basalirwa owe kibiina kya JEEMA akiikirira Munisipaari ye Bugiri, Patrick Ocan owe kibuga kya Apac, Dr. Elioda Tumwesigye owa Sheema, Patrick Rwaburindore Bishanga owa Ibanda, Abrahama Looki owa Kotido ne Hashim Sulaiman owa Nebbi.
Bano kati tebagenda kuddamu kutuula mu lukiiko lwa Ggwanga olukulu yadde okukubaganya ebirowoozo, oluvanyuma lwa balamuzi okukizuula nti babaddeyo mu bukyamu nga mu kiseera we baalonderwa akakiiko ke byokulonda kaali tekannaba kumanyisibwa ku kukutulwamu kwa bitundu bye babadde bakiikirira.
Akakiiko ke byokulonda saako ne sabawolereza wa Gavumenti baali baatekayo okujulira kwabwe mu kkooti ensukkulumu oluvanyuma lwa kkooti ejulirwamu okusalawo nti ddala kituufu ababaka bano baalina okwamuka olukiiko lwe Ggwanga olukulu nga basinziira ku kwemulugunya kwa eyali omubaka wa Bufumbira East Eddie Kwizera.
Kwizera mu mpaaba ye yategeza nti bano baali baalondebwa mu bukyamu nti kubanga tebalondebwa mu kulonda okwawamu mu mwaka gwa 2016, nti era tewaaliwo kujjuza bifo byabwe nga bwe kirina okuba mu mateeka ga Uganda, ekyaletawo abakugu mu mateeka okwongera okwekebejja obuwayiro bwonna mu Ssemateeka ne bakizuula nti waliwo amateeka we gatagobererwa.
Akawayiro ake 81 akatundu 2 akagamba nti bwe wanabangawo omuntu afudde oba aggiddwa mu lukiiko olukulu akakiiko ke by’okulonda kanategekanga okulonda okw’okujjuza ekifo mu nnaku 60 ekitaaliwo nakatono, nga bino ebifo byalina okulindako okutuusa nga okulonda okwwamu kuzeemu mu mwaka gwa 2021.
Abalamuzi abatuula lukalala lwa kkooti ensukkulumu okuli Esther Kisaakye, Stella Arachi Amoko, Opio Aweri, Lilian Tibatemwa, Richard Buteera, Mike Chibita ne Paul Mugamba bonna awatali kwesalamu bategezezza nti bano basobola okugira mgira nga basigala mu Palimenti okutuusa nga kkooti esazeewo ku kwemulugunya kwabwe nga bawakanya kkooti ento kye zaasalawo.
Abalamuzi era abagambye nti singa bano bafuluma Palimenti mu kiseera kino nga okujulirwa kwabwe tekunasalwawo kiba kikyamu, nti ssinga kusalibwawo ku ludda lwabwe kitegeeza nti nabo kye bakoze tekiba kya makulu, nga awo balina okulindako okusalawo okwa kkooti ento ne balyoka bafuluma lumu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com