EMBEERA ya munnamaggye Major General Wasswa Kasirye Ggwanga tewoomesa nakabululu ku kitanda gyali e Nakasero.
Ggwanga e Nakasero yatwalibwayo wiiki ewedde nga alumbiddwa ekilwadde kya lubyamira owamaanyi, era nga yali takyasobola kussa bulungi ekyawaliriza aba Famire ye okumuddusa mu ddwaliro afune obujjanjabi.
Eno kigambibwa nti olwatuusibwayo abasawo baatandika okumujjanjaba era nga mu kiseera kino yatereddwa ku byuma ebimuyambako okussa nga bwaafuna obujjanjabi.
Ensonda zilaga nti ono era alagidde abaana be abali ebweru we Ggwanga okudda amangu ddala bamujjanjabe nti kubanga teyesiga bantu balala ku mubeera ku lusegere okujjako abaana be mu kiseera kino abawangaalira mu mawanga okuli Bungereza ne America.
Ono abaana be abakulu bonna babeera bweru nga wano mu Uganda alinawo bato bokka.
Gye buvuddeko Gen. Kasirye yawulirwako nga ayogera nti akwatiddwa mu Barakisi ye Mbuya, kyokka oluvanyuma kyategerekeka nti abakulu mu maggye baali bakizudde nga obulamu bwe tebuli mu mbeera nnungi kwe kusalawo okumukwasa abasawo abakugu babeeko obujjanjabi bwe bamuwa kyokka nagaana.
Oluvanyuma baamulagira obutava mu kifo kino okutuusa nga afunye obujjanjabi, kyokka nabalemerera ne bamuvaako nga tajjanjabiddwa.
Mu kiseera kino Gen. Ggwanga aweza emyaka 65 egy’obukulu era nga yali musaale mu kuleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza.
Omukulembeze we Ggwanga ekiseera kyonna asuubirwa okugendayo okumulabako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com