KIKAKASIDDWA nti okusaala Eid ul-fitr okw’okumalako ekisiibo kwa ku Sande oluvanyuma lw’abakulira abayisiraamu mu Ggwanga okulemererwa okulaba omwezi akawungeezi k’olwokutaano.
Abayisiraamu mu Nsi yonna bamaze ennaku entukuvu 30 nga basiiba saako n’okwewaayo eri Katonda nga basaba na akamu ku bukwakkulizo bwe balina okutuukiriza mu nzikiriza yaabwe ngaa basiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramathan.
Olunaku lw’okutaano bonna baabadde ku bunkenke nga balindirira okulaba akabonero k’omwezi ekilaga nti ekisiibo kiba kiweddeko basiibulukuke kyokka akabonero ako ne katalabika nga kati kitegeeza nti bagenda kweyongerayo olunaku olulala lumu okutuusa ku sande balyoke bakuze Eid Ul-Fitr nga bwe bakikola bulijjo.
Akulira Sharia ku kitebe ky’obuyisiramu ekikulu Kampala Mmukadde Sheik Yahaya Ibrahim Kakungulu yategezezza nti olunaku lwa Eid lwakukuzibwa nga 24 May 2020 ku Sande, nasaba abayisiraamu okugoberera entekateeka eyatekebwawo ab’obuyinza mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid 19.
“Bakkiriza banange olunaku lwaffe tulukulize mu maka gaffe, tetugenda kukungaana nga bwe kibadde ku Eid endala, okusaala kwonna kukukolere awaka okusobola okwewala okusasaanya ekilwadde kino” Sheik Kakungulu bwe yagambye.
Kakungulu era yasabye abayisiraamu okuwayo Zakati nga bwe kilina okuba ku lunaku lwa Eid bulijjo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com