ABADDE omuwagizi we kisinde kya People Power Kayingi Ashraf Kato, amanyiddwanga Ashburg Kato alayidde okuttunka n’awagizi b’oludda oluvuganya Gavumenti abamulumba olw’okwegatta ku kibiina kya Nrm, Nagamba nti kati ayagala battunke ku mikutu kubana kyasinga okutegeera obulungi.
Kato agamba nti abantu ba b’oludda oluvuganya saako ne beyaleka mu kisinde kya People power basusizza nnyo omumumanyiira saako n’okumwogerera ebissongovu kyagamba nti abakikola bakikola mu bukyamu kubanga ye muntu mukulu amanyi okwelowoleza saako n’okwesalirawo butya bwagenda okutambuza obulamu bwe.
Kato okuwanda omuliro yabadde akwasibwa kompyuta Laptop ekika kya Levono saako ne munne Ray Superstar nga ekimu ku byuma bye bagenda okukozesa okukola emirimu gyabwe ebyamuwereddwa omutegesi we bivvulu Balam Balugahare.
Kompyuta zino kigambibwa nti zigenda kukozesebwa okutegeeza abantu ebikoleddwa Gavumenti ya NRM nga babyogerera ku mikutu emigatta bantu.
“Omulimu gwe nsinga okutegeera kwe kulumba saako n’okwogera ebiluma abantu ku mikutu emigatta bantu, kati zigenda kudda okunywa nga nnumba abo abeeyita abaagala enkyukakyuka mu Ggwanga lino songa banooya byabwe nga abantu, saako n’okwegaggawaza ne Famire zaabwe.
Sigenda kugumikiriza muntu yenna alumba omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni, Mutabani we Genero Muhoozi Kainerugaba saako ne kibiina kya NRM, abo bonna abasuubira okukola ekyo sijja kubaguumikiriza kubanga beebamu ku bazizza ensi yaffe emabega, mu kiseera kino twetaaga bintu bitutwala mu maaso sso ssi kuvumirira bikoleddwa” Kato bwe yagambye.
Kato yamala ekiseera kinene nga ayogerera Gavumenti eri mu buyinza eya NRM ne Pulezidenti Museveni ebisongovu, era nga agamba nti ayagala wabeewo enkyukakyuaka mu bukulembeze, wabula mu kiseera kino yakyuka nadda mu NRM era nayanirizibwa omukulembeze we Ggwanga Museveni n’amuwa ne Nte 5 zimuyambe okutandika okwekulakulanya.
Ono gye buvuddeko yagamba nti teri amusinga kwagala kisinde kya People Power kubanga yoomu ku bakibangawo era nga alina n’akabonero TATOO ku mukono gwe akalaga obwetoowaze bwlina eri People Power.
ono era azze agaba emmere saako ne nsimbi enkalu okuva ewa mutabani w’omukulembeze we Ggwanga eri banne bwe bakola omulimu gw’okwogerera ku mikutu, era nga kati bangi abaali boogerera Gavumenti ya NRM ebikikinike bagyegattako dda nga Kato ssi yasoose.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com