Omubaka we Ssaza lye Lwemiyaga mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Theodral Sekikubo kyadaaki yegasse ku babaka banne okuzzaayo ensimbi obukadde 20 ezaali zaamuweebwa okulwanyisa obulwadde bwa Covid 19 eri abali ku kakiiko akalwanyisa ekirwadde kino e Sembabule.
Sekikubo ensimbi Yazikwasizza akulira abakozi e Sembabule Willy Batalingaya n’abakulira akakiiko akalondebwa okulwanyisa ekilwadde kya Covid mu disitulikiti ye Sembabule.
Yagambye nti kino yakikoze nga atuukiriza obuvunanyizibwa obwakkanyizibwako mu Palimenti, Sipiika, Kkooti ne Pulezidenti.
Yagambye nti ayagala zigende ziyambe ku bantu bakiikirira abe Bulongo, Ntuusi Town Council, Lwemiyaga , Kyera ne Nyamitanga amagombolola agakola e Ssaza lye Lwemiyaga lyakiikirira.
Sekikubo yagenze mu maaso nategeeza nti tasemba n’omulundi n’ogumu abakozi ba Gavumenti okukekejjulwako 10000 mu buwaze okuva ku musaala gwabwe, nagamba nti balina ebizibu bingi ne nsimbi ezibasasulwa tezibamala, nagamba nti bwe kiba nga kya kweyagalira abaagala okuwaayo tabalinaaako buzibu baweeyo, nti kyokka bwe kiba eky’obuwaze tagenda kikikkiriza era wakukisimbira ekkuli mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Yanyonyodde nti ssi kituufu nti abantu be Sembabule tebeetaaga buyambi nga omukulembeze we Ggwanga bwe yagamba gye buvuddeko, nti kubanga abantu mu kitundu kino bali bubi nnyo olwe bizibu bye babaddemu omuli okuteeka kalantiini ku bisolo, endwadde ezaalumba ente zaabwe zaaleka abalunzi nga bali bubi, nga kwotadde nabavubuka abavuga boda boda za Tugende nabo bakaaba, nasaba Pulezidenti museveni nabo abayambe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com