ABATUUZE mu Munisipaari ye Nansana ge bakaaaba ge bakomba oluvanyuma lwe njala okubazingako ennaku zino nga ekilwadde kya COVID 19 kizinzeeko ensi yonna, bano bagamba nti ebyemmere ya Gavumenti gyegabira abantu abali obubi bawulira mpulire tebagifunangako.
Bano aboogeddeko ne Watcdog mu kitundu kya Kabumbi zone bagamba nti ewaabwe akawunga tekatuukanga nti era kati abamu ku batuuze batandise okufuna ebilwadde ebisibuka ku njala olw’okulya ekimu nabamu nga teabasobola kukyetuusaako.
“Eno ewaffe eby’okugaba akawunga tuwulira biwulire mu bitundu bilala, naye eno ewaffe teri yadde yali atuuseeyo, kyokka nga n’omubaka waffe Kasule Sebunnya twamutegeezaako dda ku nsonga eno natusuubiza okutuyambako.
Kati tetumanyi kye tugenda kuliisa baana baffe kubanga emirimu gye twakolanga gyonna misibe tukeera kutuula butuuzi kyokka nga tulina okubuvunanyizibwa bwokunonyeza abantu baffe eky’okulya” abatuuze bwe baagambye.
Basabye omubaka waabwe Kasule Sebunya okubasakira ku mmere okuva mu offiisi ya Ssabaminisita, basobole okufuna eky’okulya nga abalala mu bitundu ebibalinaanye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com