OLUKIIKO olw’atekebwawo Disitulikiti ye Mukono okunoonya obuyambi mu kiseera nga ekirwadde kya Covid 19 kizinzeeko ensi yonna nga ne Mukono tetaliziddwa, kyadaaki lufunye ku buwerero olwa Gavumenti okubasindikira emmere ttani 30 ez’akawunga saako ne bijanjaalo.
Kino kitegeeza nti omulimu gugenda kutandika okwanguyira akakiiko akakola ku kunoonya obuyambi, wakati nga abatuuze bali mu kulaajana okusobola okufuna eky’okulya.
Mu kiseera kino olukiiko amakanda lubadde lugasimbye nnyo mu Division ye Goma era nga eno abantu babadde bakyali wakiriko kubanga ebyalo ebisinga bibadde bifunye eky’okulya.
Wabula mu Division ye Mukono nga ojjeeko ebyalo 3 okuli Butebe, Mulago, ne industrial Area bye bibadde byafuna ku mmere eyo eyawebwayo abantu ba bulijjo, nga kati okulajana okusinga kuli mu muluka gwa Namumira Anthony eno nga yeeri abantu abasinga okuba abangi mu kibuga kye Mukono.
Bwe yabadde ayaniriza obuyambi bwe mmere okuva mu Gavumenti wali ku kitebe kya Disitulikiti e Mukono ku lw’okuna, akulira olukiiko olukungaanya obuyamba Dr. Fred Yiga yagambye nti kilungi Gavumenti okuvaayo nelowooza ku kitundu kye Mukono yadde nga baali okusooka tebakitadde mu ntekateeka.
Yagambye nti bagenda kugigaba mu bantu abo be nyini abalina okugifuna mu bwenkanya, nagumya abatuuze abatannafuna nti olukiiko luli mu kkubo lujja.
“Banaffe tubasaba mubeere bakkakamu ekirungi emmere tugirina yiino ezze saawa yonna tugenda kubatuukako, ate twongera okubasaba obutetaba mu bwediimo bwonna olwe mmere mugumikirize” Yiga bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com