MUNNAMAWULIRE Faridah Nakazibwe Ssali awereza Pulogulaamu ya Mwasuze Mutya n’amawulire ag’akawungeezi yeeremye okwegatta ku ttivvi ya NBS esangibwa e Kamwokya, nga agamba nti ku NTV gyali wamumala era ali bulungi.
Kigambibwa nti akulira NBS TV Kin Kariisa yabadde alina ddiiru gye yabadde asomeddemu Faridah Nakazibwe yeegatte ku kitongole kye nga amusuubizza okumuwa ensimbi zeyalowozezza nti zinamutengula wabula Nakazibwe nagaana.
Kariisa yabadde akozesezza embeera eliwo ennaku zino nga engambo ziraga nti Nakazibwe alina obutakkanya ne bakamaabe aba NTV olw’ebyaliwo gye buvuddeko bwe yafuna obutakkanya ne Sipiika Kadaga olwe nsimbi ezawebwa ababaka ba Palimenti.
Kyategerekese nti Kariisa yasindikidde Nakazibwe abagezi be bamuriise ekigambo saako n’okumukkirizisa ave ku serena adde e Kamwokya, nti wabula abagenze ebigambo byabawedde ku matama nga Nakazibwe abategezezza nga bwakyali omumativu ne NTV.
Wabula bino byonna Kin Kariisa abyegaanye nga agamba nti tannaba kubaako nabantu baasindikira Nakazibwe nti era abadde tanakirowozaako.
Bannamawulire abawerako bazze beegatta ku NBS nga bava ku NTV okuli Solomon Serwanja, Hatimah Naluggwa, Raymond Mujuni Nabalala bangi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com