ABABAKA ba Palimenti ebigambo bibaweddeko kkooti enkulu bwe balagidde ensimbi obuwumbi 10 ze baafuna nga beerimbise mu kulwanyisa ekilwadde kya Covid 19 mu bitundu byabwe bye bakiikirira.
Bano balagiddwa ensimbi bazizzeeyo mu Palimenti oba baziwe obukiiko bwa Disitulikiti obwalondebwa okulwanyisa ekilwadde kya Covid 19 mu bitundu gye bakikirira, oba akakiiko ak’okuntikko ake Ggwanga lyonna.
Omulamuzi Micheal Elubu yayisizza ekilagiro kino ku lw’okusatu wakati mu kuwa ensala ye mu kwemulu=gunya okwatwalibwayo omubaka wa Ntungamo Munisipalite Gerald Karuhanga nga awakanya enkola ya babaka banne.
Wiiki ewedde Karuhanga yali yafuna ekiragiro okuva mu kkooti nga kiyimiriza enkola yonna eyali eyitiddwamu okuwa ababaka ensimbi, kyokka Sipiika wa Palimenti na babaka ne bagaana okuteeka ekiragiri kya kkooti mu nkola.
Omukulembeze we ggwanga naye bwe yabadde ayogerako eri e Ggwanga olunaku lw’okubiri yalabudde ababaka ku kukozesa ensimbi zino, ze yayogeddeko nga ezitaggibwayo mu mutima mulungi era nti ababaka baalaze omululu wakati nga e Ggwanga litubidde mu bizibu bye kirwadde kya Corona.
Oluvanyuma lwe nsala y’omulamuzi omubaka Karuhanga agambye nti abadde tasobola kutunula butunuzi nga ababaka boolesa omulu ogw’amaanyi saako n’okuyisa amaaso mu kitongole ekilamuzi, nagamba nti teri na mulundi nagumu bwagenda kuleka babaka banne kulya nsimbi ya muwi wa musolo nga tebalina kye bagenda kukola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com