PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo natabukira ababaka ba Palimenti olw’okwewa omusimbi omuyitirivu nga e Ggwanga liri mu Buzibu bw’okulwanagana ne kirwadde kya Covid 19, nagamba nti kino kye baakola ssi kyabuntu naakamu.
Museveni agamba nti embeera y’obutalumirirwa Ggwanga ne bannaUganda eri mu babaka ba Palimenti ssi ya buntubulamu, nti kubanga ne bwe balabba nga waliwo obuzibu obwetagisa ensimbi okuyamba abantu bbo bagulaba nga mukisa kuyisaawo byabwe, nagamba nti ekilungi ensimbi ezo obukadde 20 zikyaliko obukwakkulizo okuva mu kkooti nga mu mbeera eyo balina okuzegendereza ennyo okulaba nga tebagwa mu mutego gwazo.
Museveni yawadde Ababaka amagezi nti bwe baba baakubuuka mutego gwa nsimbi zino balina okuzanjulira abakulira abakozi ku zi Disitulikiti, n’obukiiko obwateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya Covid19 balambikibwe engeri gye bagenda okuzikozesaamu bwe kitaba ekyo bajja kukakibwa okuzizza, kubanga bwe baali bazifuna baagamba nti zigenda kuyambako mu kulwanyisa kirwadde kya covid mu bitundu byabwe.
Okwogera bino yabadde alambika e Ggwanga nga bwe liyimiridde ku kirwadde kya Covid ekyazingako ensi yonna nga ne Uganda mwogitwalidde, wali mu maka g’obwaPulezidenti e Nakasero ku lw’okubiri.
Kinajjukirwa nti ensimbi obukadde obuwumbi 10 Ababaka ze beegabira era nga zezivuddeko akabasa zaakekejjulwa ku mutemwa ogw’obuwumbi 105 ogw’enyongereza ogw’asabibwa Minisitule ye by’obulamu okusobola okulwanyisa ekirwadde okwetoloola e Ggwanga.
Wabula ensonga eno bwe yaletebwa mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Ababaka baasalawo nabo okwegabirako obukadde 20 buli omu nga bagamba nti baalina obwetaavu mu bitundu gye bakiikirira omuli okwongera okusomesa abantu baabwe ebikwata ku kirwadde kya Covid saako n’okuteeka amafuta mu mmotoka zaabwe ezitambuza abalwadde ekintu abantu abasinga kye baawakanya ennyo.
Wano Ababaka abamu nabo baagenda mu maaso ne bakiwakanya omuli omubaka wa Munisipaari ye Ntungamo Gerald Karuhanga yagenda mu kkooti nga awakanya babaka banne okufuna ensimbi zino, era kkooti neesalawo okuyimiriza enkola yonna eyali eyitiddwamu okuteeka ensimbi zino ku akawunti za babaka.
Wabula yadde nga ekiragiro kya kkooti kyaliwo, Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga n’ababaka kino bakiziimula, era ne bagenda mu maaso ne bajja ensimbi okuva mu ma Bbanka ne bazikozesa ebyabwe yadde nga baali bayimiriziddwa kkooti.
Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu naye yakomyawo ensimbi obukadde 20 nga ataddeko ne kiwandiiko ekyali kigamba nti yali ssi wakuzikozesa kubanga tezayita mu mateeka, ekintu ekyatabula Sipiika Kadaga naalagira akakiiko ka palimenti akakwasisa empisa okukangavvula Kyagulanyi nga agamba nti yayisa olugaayu mu Palimenti
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com