ABAKULEMBEZE mu Disitulikiti ye Mukono saako ne bannaddiini bakedde ku kitebe kya Disitulikiti okubaawo nga omulimu gw’okugaba emmere mu maka gutandika.
Bannaddiini ababadde bakulembeddwamu Omulabirizi we Mukono Rt. Rev. James Williams Sebaggala saako n’akulira amakkanisa ga balokole mu bendobendo lye Mukono Pastor Samuel Lwandasa be basoose okusabira saako n’okusiima abo abawaddeyo emmere okugenda mu maka g’abantu abo abatasobola mu kiseera kino kwetuusako kyakulya.

Oluvanyuma akulira akakiiko akatekebwawo okunoonya obuyambi okwetolola Mukono eyali omumyuka wa Ssabapoliisi we Ggwanga Dr. Fred Yiga saako n’omubaka wa Gavumenti Fred Bamwine banjulidde abantu obuyambi bwonna obusolozeddwa mu bantu mu kiseera kino nga e Ggwanga liri ku bunkenke olw’ekirwadde kya Covid 19 ekyalumba ensi gye buvuddeko.
Dr. Yiga agambye nti abantu abalina omutima omulungi bafubye okuwaayo obuyambi omuli emmere enkalu nga omuceere, akawunga, ssabuuni, emifaliso, amafuta ne bilala, nagamba nti ye nakakiiko ke bagenda kulaba nga bituuka bulungi ku bantu abo benyini abalina okubifuna mu bwesimbu n’amazima.

Agambye nti bagenda kuyambibwako ekitongole kya RED CROSS nabasilikale abebitongole byonna okula nga batambuza omulimu guno obulungi ate mu bwangu.
Basookedde ku kyalo Butebe eno nga baaniriziddwa Sentebe waayo James Aliwaali era ne batandika okugenda nju ku nju nga nga bagabira abantu emmere ekintu ekileese akaseko kumatama ga batuuze baayo, eno bwe banavaayo bagenda kweyongerayo ku kyalo Mulago saako ne Industrial Area yonna bagabe emmere abantu bawone enjala.
Dr. Yiga ayongedde okulajanira abazira kisa abalinawo okwongera okutuukirira offiisi ye esangibwa ku kitebe kya Disitulikiti e Mukono baweeyo mu kuyambako ku bantu abatalina kya kulya mu kiseera kino nga e Ggwanga liri ku bunkenke olwe kirwadde kya Corona.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com