MUNNAMAWULIRE wa ttivvi ya NBS Samson Kasumba kyadaaki ayimbuddwa ku kakalu ka Poliisi okuva mu kaddukulu ka Poliisi y’okuluguudo Kira mu kiro ekyakyakeesezza olw’okusatu.
Ono abadde yakwatibwa mu kiro ekyakeesa olw’okubiri bwe yali ava okukola ku NBS nasuzibwa mu kaddukulu.
Ku lunaku lw’okubiri bakamaabe aba NBS saako ne bitongole ebilwanirira eddembe lya Bannamawulire baabukereza nkokola okugenda ku poliisi okulaba bwe gwabadde wabula mu kiseera ekyo baabadde tewali musango gwe baamuguddeko.
Oluvanyuma omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yategezezza bannamawulire ku be yasanze ku gwandisizpo ekkulu mu Kampala nga Kasumba bwe yabadde akwatiddwa ku bigambibwa nti yagezaako okukuma omuliro mu bantu okumamulako Gavumenti eri mu buyinza, era nga mu kiseera ekyo baabadde bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.
Poliisi ne bambega baatutte Kasumba mu makaage agasangibwa mu bitundu bye naalya ne bagaaza gonna era ne bazuulayo computer ekika kya Laptop gye baagenze nayo ku poliisi wamu ne Kasumba.
Wano kigambibwa nti baayongedde okumukunya ku bigambo byazze ayogera nga ali ku mpewo za mawulire wabula oluvanyuma munnamateeka we Nicholas Opiyo naasaba abakulu mu Poliisi omuntu we ateebwe ku kakalu ka Poliisi.
Kino kyatutte ebbanga ddeneko naye oluvanyuma ku ssawa nga 3 ez’ekiro nateebwa nadda mu makaage.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com