Munnamawulire era omusomi waago ku Ttivvi ya NBS Samson Kasumba akwatiddwa naggalirwa ku kitebe kya Poliisi ya Kira Road.
Kino kibikkuddwa munnamawulire munne era nga ye mukulembeze we kibiina ekigatta bannamawulire mu ggwanga ekya UJA Bashir Kazibwe Mbaziira, bwabadde ku pulogulaamu emanyiddwa nga One On One With Tamale Mirundi.
Kazibwe agambye nti Kasumba akuumibwa ku Poliisi ya Kira Road mu Kampala, naye nga ensonga ezimukwasizza tezinategerekeka.
Abakulembera NBS TV bategezezza nga basinziira ku mukutu gwabbwe mugatta bantu nti Kasumba yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza olw’okubiri, bwe yabadde adda mu makaage agasangibwa mu bitundu bye Nalya, era nti ono yabadde yakamala okusoma amawulire ga NBS live at 9.
“Tukola ekisoboka okulaba nga tuzuula ensonga entuufu eyakwasizza omukozi waffe” Aba NBS bwe bategezezza.
Mu kiseera kino Poliisi ebadde tennavaayo kubaako kyeyogera …..
Ebisingawo mu birinde wano…..
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com