ABASAWO be By’obulamu mu Disitulikiti ye Mukono batandise kawefube agendereddwamu okugenda mu buli maka nga basomesa abantu ebikwata ku kirwadde kya COVID19 ekyeyongera okusasaana buli kadde.
Bano nga bakulebeddwamu Dr. Merhab Nalumu Kiriggwajjo batandikidde mu magombolola okuli Ntenjeru, Mpatta, Nama ne Kimenyedde, nga eno bagenda ne bakyalira bantu naddala abakadde ne bababuulira amawulire agakwata ku kirwadde kino, saako n’okusomesa butya bwe bayinza okukyewala.
Dr. Kiriggwajjo agamba nti bakizudde nga abantu mu byalo bangi tebalina kye bamanyi ku mawulire agakwata ku kirwadde kino, era nga nabamu balina endowooza nti kikwata bazungu bokka, kyagamba nti kino kibadde kiviiriddeko abatuuze obutafaayo yadde okutwala mu maaso enkola ezatekebwawo ab’ebyobulamu omuli okunaaba engalo buli kadde, okwewa amabanga nga nga baliko kye bakolera awamu, okwongera ku mutindo gwe by’obuyonjo mu maka gaabwe ne bilala.
Agamba nti singa enkola eno enyikizibwa mu bantu ekirwadde tekijja kwongera kusasaana nga bwe kiri mu mawanga ga bazungu.
“Ekyatutandisa enkola eno twali tumaze okukizuula nti mu bitundu bye bibuga abantu baali bategende bulungi ebikwata ku COVID 19 kyokka nga mu byalo tebalina kye bamanyi, olwo nga kiyinza okuba ekyangu okusasaanya obulwadde singa wabaawo omuntu agenda nga abulina naabetabamu” Dr. Kiriggwajjo bwe yagambye.
Yanyonyodde nti mu nkola eno era bagenda kuba nga bawa obujjajabi obusookerwako eri abakadde abatasobola kugenda mu malwaliro, saako n’okubawa eddagala bawone endwadde ezibasubuwa omuli emisujja, emigongo, amagulu agazimbye, amabwa mu mbuto (ulcers) nga kwotadde n’okubaterawo ebidomola ne sanitiza basobole okunaaba engalo buli kadde.
Yasabye abakulembeze be bitundu okubegattako mu kawefube ono nga bababuulira abantu abatesobola abali mu bitundu byabwe basobole okufuna obujjanjabi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com