PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni alagidde emmere gye yasuubiza okugabira abantu abatalina kya kulya naddala mu kiseera kino nga emirimu gyayimirizibwa olw’ekirwadde kya COVID 19 etandike okugabibwa.
Museveni agamba nti emmere elina okugabibwa abantu bagirye kubanga bali bubi, nagamba nti tajja kulinda babaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu kusalawo ku nsonga eno kubanga embeera eliwo mu Ggwanga agigerageranyizza ku lutalo olutalinda bantu kwetegeka wabula we lubasanga we batandikira.
Okwogera bino abadde ayogeraki eri e Ggwanga ku mbeera nga bw’eyimiridde mu Uganda oluvanyuma lwe kirwadde kya Covid 19 okuzinda ensi yonna era emirimu egyenjawulo ne giyimirira.
Anyonyodde nti abantu bangi emirimu gyabwe gyayimirira okuli abakola mu zi Saloon, abalina obulemu, bannamwandu, bamulekwa nabalala abakola emirimu gya lejja lejja oba mmere ya leero bagambye nti mu kiseera kino tebalina kye balya nga tayinza kulinda.
Akyukidde ab’ebyokwerinda omuli ne LDU bayogeddeko nti bano balina okukyusa enkola yabwe eye mirimu, naawa eky’okulabirako nti bayingira mu mayumba ga bantu ne bafuukuza munda nagamba nti kino tekiriiyo era agenda kubassaako amaanyi mangi nga ayita mu Lt. Col. Edith Nakalema gwawadde ebiragiro abakoleko nga amateeka bwe galagira.
Agambye nti omuntu okubeera awaka kitegeeza mu nnnyuma ye munda, ku lubalaza, mu luggya ne Kabuyonjo, nti nga omuntu wabeera mu bifo ebyo teri muntu yenna ayinza kumugambako kubanga aba wuwe.
Ono era aweze abantu abayitibwa ba Crime Preventers okukomya mbagirawo okwetaba mu bikwekweto nagamba nti bwe banaaba babeetaaze bajja kuyitibwa.
Alabudde abakola mu butale abatayagala kutuukiriza biragiro byeyisa wakati mu kwerinda ekirwadde kya Covid nagamba nti boolekedde okuggalawo obutale buno okutuusa nga kalantiini ewedde.
Ayongedde okusaba abantu okusigala mu maka gaabwe kyagambye nti kino kigenda kuyamba okusobozesa abeby’obulamu okulondoola abalina ekilwadde kino era nasaba ab’ebyokwerinda bulijjo okufaayo okubuuza abantu bano wag ye baba balaga.
Yebazizza abantu ne bitongole by’obwanakyewa ebivuddeyo ne biwaayo emmotoka kapyata okuyambako okulwanyisa ekirwadde kya Covid, nasaba nabalala okuvaayo okuyambako mu ngeri yeemu naye nga bawayo emmotoka ennamu zokka ezikyasobola okwetoloola e Ggwanga lyonna.
Alabudde abasawo be kinansi abefunyiridde okulimba abantu nti balina eddagala eliwonya obulwadde buno era nga bagenda ne mu maaso ne beelanga ku mikutu gya mawulire, wano naalagira Minisita we bye mpuliziganya Judith Nabakooba emikutu gino okugiggalawo amangu ddala.
Museveni yebazizza bannaUganda nga kwotadde ne ba Ssentebe be byalo abavuddeyo okulwanyisa obulwadde buno, nagamba nti kino akimanyi nti bannaUganda bakisobola kuba abamanyi bulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com