Opendi agamba nti bino byonna bifumbirire okuva ku bantu abatamwagaliza ye ne Mwami we era omubaka mu Palimenti Artikins Katushabe, era nga ayongerako nti abakola bino byonna bava mu Minisitule gye yalimu eye by’obulamu gyagamba nti eno yalekayo entalo nnyingi ezimulwanibwa abaali batamwagaliza.
Agattako nti ne mu Minisitule gyalimu eye by’obugagga by’omuttaka nayo eliyo abagagga abalwana nga bano yabalemesa okusima Gold e Kassanda nga kati be bakuma mu bino byonna omuliro byagamba nti byabutaliimu era tabitidde.
“Kituufu Omwami wange yakomawo mu Ggwanga okuva mu limu ku mawanga agalimu ekirwadde kino, era ne tusalawo okumukebera covid 19 saako n’okumuteeka mu Kalantiini okumala ennaku 14, naye lwaki munange Minisita we by’obulamu Dr. Jane Ruth Acheng naye eyali ava e South Africa mu mwezi gwe gumu ogw’okusatu ye yajeemera ekiragiro ky’okubeera mu kalantiini nga olukongoolo basinze kuluteeka kunze nga omuntu” Opendi bwe yebuuzizza.
bwe yabadde mu Palimenti ku lw’okusatu Opendi yagambye nti yeewunyizza okulaba nga SsabaMinisita Dr. Ruhakana Rugunda amukubira essimu anyonyole ku bimwogerwako, nagamba nti yamubuulidde ababiri emabega byonna bagamba nti bamulinako nnugu ate nga mu Minisitule ye by’obulamu gye bali yavaayo dda.
Yagambye nti wakulekulira ekifo ky’obwaMinisita singa obujulizi buvaayo nga ddala kituufu yalagira omwami we okuva mu kifo we yali akuumibwa nga akyetegerezebwa abakugu mu kawuka ka Corona Virus.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com