SSABADUMIZI wa Poliis ye Ggwanga Martin Okoth Ochola alabudde abasilikale abeefunyiridde okukuba abantu emiggo nga beerimbise mukutuukiriza ekiragiro kya Pulezidenti eky’okuyimiriza entambula zonna eza lukale, nagamba nti anaddamu okukikola bagenda kumuvunana mu mateeka nga omuntu.
Ochola agamba nti era naabo banasangibwa nga bakaka abantu okuggalawo zi Buzinensi zaabwe naddala ezitunda eby’okulya nabo tebagenda kubasilikirira baakuggulwako emisango egyekuusa ku kulinnyirira eddembe ly’obuntu.
Nga asinziira mu bubala bwe obumusomeddwa akulira ebikwekweto mu Ggwanga Asuman Mugyenyi Ochola era alaze okwenyamira olwa basilikale ate abazze ku bantu ba bulijjo ne babakuba emiggo kyagambye nti ssi kituufu naakamu.
Ku ntandikwa ya wiiki eno omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni yavaayo naawera entambula yonna eyalukale saako n’okulagira abantu abasobola okusigala awaka mu kawefube gwe yatandikawo okusobola okuziyiza obulwadde bwa COVID 19 obutasasanira bannaUganda.
Wabula okuva olwo abakuuma ddembe babadde balabwa nga batulugunya abantu saako okubakuba emiggo, Omudumizi wa Poliisi ye Ggwanga kyagamba nti kikyamu.
Abakuuma ddembe era balagiddwa okuleka ebidduka byonna ebitambuza abakyala b’embuto okutambula nga teri abakubye ku mukono.
“Tubategeeza nti tewali kuggalawo ntambula yonna nga bwe kibadde kiwulikika ku kikutu gyamawulire egitali gimu wabula ekiriwo kwe kulambika entambula ekkirizibwa mu kiseera kino” Mugyenyi bwategezezza ebili mu kiwandiiko kya mukamaawe.
Bino byonna we bijjidde nga ku lunaku lw’okuna abakuuma ddembe baalabibwako mu bifananyi nga bakutte embukuuli ze miggo bagiligita abakyala abakulu saako n’abaana baabwe abaali batunda eby’okulya mu Kampala, ekintu ekyavumirirwa ennyo abalwanirizi be ddembe ly’obuntu saako ne bannaUganda okutwalira awamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com