NAMPALA wa Gavumenti Ruth Nankabirwa agamba nti ajja kuba musanyufu nnyo singa Pulezidenti Museveni agaana okuteeka omukono ku bbago lye tteeka ly’obuyigirize okulifuula etteeka elijjuvu nti kubanga ensonga eno teyayisibwa mu mutima mulungi.
Nankabirwa ategezezza nti Babaka banne ekiteeso kino baakireeta mangu mangu, nga tebaawa mukisa banaabwe bonna naddala ab’oludda oluli mu buyinza kukubaganya bulungi birowoozo ku nsonga eno, yadde okwebuuza ku bantu be bakiikirira.
“Manyi nti byonna tebinaggwa kubanga omukulembeze we Ggwanga yasembayo ku nsonga eno, essaala yange egamba nti singa mukama amuwa okubikkulirwa ne yetegereza bulungi ebili mu bbago lino, oluvanyuma nagaana okuliteekako omukono nze ngenda okusinga okuba omusanyufu kubanga bantu baffe aba NRM abalina obumanyirivu mu kukolera bantu kyokka nga ebitabo tebyawera, bagenda kuba batereddwa okuvuganya” Nankabirwa bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ayogerako ne bannamawulire ku Palimenti, nga alaga embeera eddako oluvanyuma lwe bbago lino okufuulibwa etteeka.
Kinajjukirwa nti Ababaka baayisa ekiteeso ekigamba nti walina okubaawo obuyigirize obwenkanankana ne siniya ey’omukaaga ku bifo okuli ebyabakulembeze b’ebitundu ebiri mu bibuga nga kwotadde ne Town Councils ku ba Kkasala ba Ssentebe b’amagombolola, ba Meeya be bibuga n’abakulembeze abamu ku zi Disitulikiti.
Kino kati kirindiridde Pulezidenti Museveni mu buyinza obumuwebwa mu Ssemateeka we Ggwanga okuteeka omukono ku biwandiiko lifuuke etteeka elijjuvu.
Gye buvuddeko amagombilola g’ebyalo agasinga obungi gaasuumusibwa okutuuka ku ddaala lya Town Councils nga kitegeeza nti singa ekiteeso kino kiyita NRM ekibiina ekiri mu buyinza kigenda kufiirwa abamu ku bakulembeze ate abawagizi ennyo aba Pulezidenti Museveni.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com