BANNAMATEEKA ba Gen. Henry Tumukunde balaze obutali bumativu olwe nsalawo y’omulamuzi Valerian Tumuhimbise okusalawo okusindika omuntu waabwe mu kkomera e Luzira kye bagamba nti kyabadde kikyamu, kubanga ne misango egy’amuguddwako gyabadde tegiriiyo.
Alex Luganda nga ye Puliida wa Tumukunde agamba nti emisango okuli ogw’okulya mu Nsi olukwe saako n’ogwokusangibwa ne by’okulwayisa egyagguddwa ku muntu waabwe tegiriiyo kubanga ensi yonna emanyi Gen. Tumukunde mujaasi eyawummula emirimu gya majje, kale nga tewali nsonga yonna emugaana kwogera ku bintu bigenda mu maaso mu Ggwanga nga abantu abalala bonna abalala.
Ensonga y’okusangibwa ne mmundu mu makaage Luganda agamba nti eno telina makulu kubanga okusinziira ku ddaala lya Genero Tumukunde lyaliko alina okuba n’abakuumi, saako ne mmundu nga omujaasi ali ku ddaala erya waggulu naye okusobola okwekuuma nga omuntu.
“Omulamuzi yatumazeeko ebyewungula kubanga bwagamba nti Gen. Tumukunde yasangiddwa ne mmundu kya tulemye okutegeera, abadde ayagala Genero omulamba bamusange n’amiggo??” Luganda bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti bagenda kulaba nga bakola ekisoboka okulaba nga omuntu waabwe akomezebwawo mu kkooti mangu ayimbulwe, kubanga ekisooka mulwadde nnyo akyetaaga obujjanjabi.
Gen. Tumukunde gye buvuddeko yalangirira okwesimbawo ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga, era wiiki ewedde amaggye ne Poliisi baasalako amalkaage agasangibwa e Kololo ne gamukwata natwalibwa ku kitebe kya bambega e Kibuli, oluvanyuma naggalirwa e Kireka.
Ab’ebyokwerinda beeyongerayo ne baaza amakaage ne bazuula nga yalina emmundu ennene 1 saako ne Pisito 2 ezaamuviirako akabasa nga bagamba nti yazirina mu bukyamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com